bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 3
Esther 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n'amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye.
2
Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka, ne bavunnamiranga Kamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Naye Moluddekaayi n'atamuvuunamiranga era n'atamuwa kitiibwa.
3
Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne babuuza Moluddekaayi nti, “ Lwaki togondera kiragiro kya kabaka?”
4
Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba oba nga anaagumikiriza enneyisa ya Moluddekaayi; kubanga Moluddekaayi yali ababuulidde nga Muyudaaya.
5
Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, kale Kamani n'ajjula obusungu.
6
Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali, Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi.
7
Awo mu mwezi ogwolubereberye, gwe mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
8
Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti, “Waliwo eggwanga ly'abantu abasaasaanye ne babuna mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka, bw'ekityo tekigasa kabaka okubagumiikiriza.
9
Kabaka bw'anaasiima, ayise etteeka eriragira bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza omutwalo gumu (10,000), mu ggwanika ly'obwakabaka; nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.”
10
Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya.
11
Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Effeeza ngikuwadde, era n'abantu n'abo obakole nga bw'osiima.”
12
Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali; mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.
13
Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abavubuka n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi ogwa Adali, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago.
14
Ebyaggibwa mu kiwandiiko ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.
15
Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka lyateekebwawo mu kibuga ekikulu Susani. Awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; kyokka ng'ekibuga ekikulu Susani kisobeddwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10