bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 7
Esther 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
1
Awo kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ewa Eseza kaddulubaale.
2
Awo kabaka n'agamba Eseza nate ku lunaku olwokubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Kiki ky'osaba, Nnaabagereka Eseza, era onookiweebwa, era kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.”
3
Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti, “Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ayi kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange, olw'okusaba kwange, era n'obw'abantu bange olw'okwegayirira kwange.
4
Nze n'abantu bange tutundiddwa, okuzikirizibwa, okuttibwa n'okumalibwawo ddala. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nnandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.”
5
Awo kabaka Akaswero n'alyoka abuuza Eseza kaddulubaale nti, “Ani, era ali ludda wa ayaŋŋaanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?”
6
Awo Eseza n'ayogera nti, “Omulabe era atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Awo Kamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.
7
Awo kabaka n'asituka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri; Kamani n'asigalawo okwegayiririra obulamu bwe eri Eseza Nnaabagereka; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza.
8
Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti, “N'okukwata ayagala kukwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba?” Ekigambo bwe kyava mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9
Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti, “Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), Kamani ky'akoledde Moluddekaayi, eyayogera ebigambo ebyawonya kabaka kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani.” Kabaka n'ayogera nti, “Mumuwanike okwo.”
10
Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali akoledde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10