bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 9
Esther 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
1
Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13), ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafugirako; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abo abaabakyawa.
2
Awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi; so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.
3
Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko.
4
Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna; kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga obukulu.
5
Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna n'ekitala, ne babazikiriza okubamalawo, ne bakola nga bwe baayagala ku abo abaabakyawa.
6
Ne mu kibuga ekikulu Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja bitaano (500).
7
Awo Palusandasa, Dalufoni, Asupasa,
8
ne Polasa, Adaliya, Alidasa
9
ne Palumasuta, Alisayi, Alidayi ne Vaizasa,
10
batabani ba Kamani ekkumi, Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; kyokka ne batanyaga kintu kyabwe na kimu.
11
Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka.
12
Awo kabaka n'agamba Nnaabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse ne bazikirizza abasajja bitaano (500), mu kibuga ekikulu Susani ne batabani ba Kamani ekkumi (10). Kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? Era onookiweebwa, Oba kiki kye weegayirira nate? Era kinaakolebwa.”
13
Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani bakkirizibwe enkya okukola ng'ekiragiro ekyaleero bwe kibadde, era ne batabani ba Kamani ekkumi (10), bawanikibwe ku kitindiro.”
14
Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo; kale ne balangirira etteeka mu Susani, ne batabani ba Kamani ekkumi, ne bawanikibwa.
15
Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi Adali, ne batta abasajja bisatu (300) mu Susani; naye ne batakwata ku munyago.
16
Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana okutaasa obulamu bwabwe, n'okwewonya eri abalabe baabwe, ne batta ku abo abaabakyawa emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (75,000), naye ne batakwata ku munyago.
17
Ebyo byabaawo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu (13) olw'omwezi gwa Adali; enkeera ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya (14) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
18
Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13) n'olw'ekkumi n'ennya (14), ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano (15) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
19
Abayudaaya ab'omu byalo ne mu bibuga ebitaliiko bbugwe kye baava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako ebirabo.
20
Awo Moluddekaayi n'abiwandiika ebyo, n'aweereza Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala.
21
Era n'abalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano (15), buli mwaka,
22
nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula ku abalabe baabwe, n'omwezi ogw'abafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala; bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako ebirabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo
23
Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baali batandise, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira;
24
kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza okuzikiriza Abayudaaya, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza.
25
Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa n'alagira nti olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.
26
Ennaku ezo kye baava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna ebyali mu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba olw'ensonga eno, n'olw'ebyo ebyababaako,
27
Abayudaaya kye baava balagira ne basuubiza era ne basuubiriza n'ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka.
28
Era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo mu mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okwerabirwa eri ezzadde lyabwe.
29
Awo Nnaabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyokubiri eya Pulimu.
30
N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu abiri mu musanvu (127) ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,
31
okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.
32
Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10