bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 5
Esther 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
1
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya Nnaabagereka, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka, kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba.
2
Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge, kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.
3
Awo kabaka n'alyoka amugamba nti, “Oyagala ki, Nnaabagereka Eseza? Era kiki ky'osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.”
4
Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero ku embaga gye mmufumbidde.”
5
Awo kabaka n'ayogera nti, “Mwanguye okuleeta Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde.” Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye.
6
Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Osaba ki? Kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.”
7
Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti, “Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino;
8
oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje nate ku embaga gye nnaabafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.”
9
Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo. Naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira wadde okumusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.
10
Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka, n'atumya mikwano gye n'agamba ne Zeresi mukazi we okubeegattako.
11
Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe byenkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.
12
Era Kamani n'ayogera nti, “Weewaawo, ne Nnaabagereka Eseza teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka ku embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka
13
Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka.”
14
Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti, “Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo; kale olyoke oyingire ne kabaka ku embaga ng'osanyuka.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'azimbisa ekitindiro.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10