bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 14
Proverbs 14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Buli mukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.
2
Atambulira mu bugolokofu bwe atya Mukama: Naye akyamakyama mu makubo ge amunyooma.
3
Mu kamwa k'omusirusiru mulimu omuggo ogw'amalala: Naye emimwa gy'ab'amagezi ginaabakuumanga.
4
Eteri nte ekisibo kiba kirongoofu: Naye amaanyi g'ente galeeta okwala kungi.
5
Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza.
6
Anyooma anoonya amagezi n'atagalaba: Naye okumanya kwangu eri oyo alina okutegeera.
7
Yingira mu masso g'omusirusiru, Toolabe ku ye mimwa gya kumanya.
8
Okutegeera ekkubo lye ge magezi g'omutegeevu: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe kulimba.
9
Abasirusiru bakudaalira omusango: Naye mu bagolokofu mulimu ekisa.
10
Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo.
11
Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa.
12
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo ge makubo ag'okufa.
13
Ne bwe guseka omutima gunakuwala; N'enkomerero y'okuseka buyinike.
14
Adda ennyuma mu mutima gwe alikkuta amakubo ge ye: N'omuntu omulungi alikkuta ye yennyini.
15
Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.
16
Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusirusiru aba n'ettitimbuli, era yeeyinula.
17
Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asala enkwe embi akyayibwa.
18
Abatalina magezi basikira obusirusiru: Naye abategeevu bassibwako engule kwe kumanya.
19
Ababi bakutamira abalungi; N'ab'ekyejo awali emiryango egy'abatuukirivu.
20
Omwavu ne munne amukyawa: Naye omugagga alina emikwano mingi:
21
Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa.
22
Abagunja obubi tebawaba? Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga byabwe abagunja obulungi.
23
Omulimu gwonna guliko kye gugasa: Naye okubuyabuya kw'emimwa kwavuwaza bwavuwaza.
24
Obugagga bwabwe ye ngule ey'ab'amagezi: Naye obusirusiru bw'abasirusiru busirusiru bwereere.
25
Omujulirwa ow'amazima awonya emmeeme z'abantu: Naye aleeta eby'obulimba akyamya.
26
Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro.
27
Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.
28
Mu lufulube lw'abantu mwe muli ekitiibwa kya kabaka: Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira:
29
Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye alina omwoyo ogwanguyiriza agulumiza obusirusiru.
30
Omutima omutuufu bwe bulamu obw'omubiri: Naye obuggya kwe kuvunda kw'amagumba.
31
Ajooga omwavu avuma Omutonzi we: Naye asaasira oyo eyeetaaga amussaamu ekitiibwa.
32
Omubi asindikibwa wansi mu kwonoona kwe: Naye omutuukirivu alina essuubi mu kufa kwe:
33
Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri ku kitundu eky'abasirusiru eky'omunda kimanyisibwa.
34
Obutuukirivu bugulumiza eggwanga; Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna.
35
Omuddu akola eby'amagezi ye aganja eri kabaka: Naye obusungu bwe bunaabanga eri oyo akwasa ensonyi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31