bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 30
Proverbs 30
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa. Omusajja agamba Isyeri, Isyeri ne Ukali;
2
Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna, So sirina kutegeera kwa muntu:
3
So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.
4
Ani eyali alinnye mu ggulu n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi. Erinnya lye ye ani, n'omwana we erinnya lye ye ani, oba ng'omanyi?
5
Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga.
6
Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.
7
Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa:
8
Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga:
9
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.
10
Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.
11
Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa.
12
Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo, Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe.
13
Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu! N'ebikowe byabwe bigulumizibwa.
14
Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.
15
Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
16
Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi etekkuta mazzi; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.
17
Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya.
18
Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebinnema, Weewaawo, ebina bye ssimanyi:
19
Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; N'ekkubo ery'omusajja n'omuwala.
20
Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Alya n'asangula ku mimwa gye, N'ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze.
21
Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:
22
Omuddu bw'aba kabaka; N'omusirusiru bw'akkuta emmere;
23
Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we.
24
Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
25
Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya;
26
Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27
Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina;
28
Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.
29
Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30
Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna;
31
Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka atagolokokerwako.
32
Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Teekanga omukono gwo ku kamwa ko.
33
Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31