bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 3
Proverbs 3
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;
2
Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako.
3
Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:
4
Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
5
Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:
6
Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
7
Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi:
8
Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go.
9
Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna:
10
Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
11
Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya:
12
Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.
13
Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera.
14
Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi.
15
Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.
16
Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa.
17
Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18
Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
19
Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera.
20
Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo.
21
Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa;
22
Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo.
23
Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala.
24
Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga.
25
Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga:
26
Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa
27
Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola.
28
Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe.
29
Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe
30
Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze.
31
Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna.
32
Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu.
33
Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
34
Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa.
35
Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31