bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 20
Proverbs 20
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi.
2
Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma: Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye.
3
Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa: Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga.
4
Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.
5
Okuteesa okw'omu mutima gw'omuntu kuli ng'amazzi ag'omu luzzi oluwanvu; Naye omuntu alina okutegeera alikusena.
6
Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye: Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?
7
Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa.
8
Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Asaasaanya obubi bwonna n'amaaso ge.
9
Ani ayinza okwogera nti Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu mu kwonoona kwange?
10
Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama.
11
Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
12
Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Mukama ye yakola byombi.
13
Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Zibulanga amaaso go, onokkutanga emmere.
14
Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugenda n'alyoka yeenyumiriza.
15
Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi.
16
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
17
Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
18
Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi.
19
Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Kale teweetabulanga n'oyo ayasama ennyo emimwa gye.
20
Akolimira kitaawe oba nnyina, Ettabaaza ye erizikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
21
Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye; Naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa.
22
Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.
23
Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.
24
Amagenda g'omuntu gava eri Mukama; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
25
Kyambika eri omuntu, okwogera ng'ayanguyiriza nti Kitukuvu, Awo ng'amaze okweyama n'alyoka abuuza.
26
Kabaka ow'amagezi awewa ababi, Era abaleetako nnamuziga ewuula.
27
Omwoyo gw'omuntu ye ttabaaza ya Mukama, Ekebera ebitundu byonna eby'olubuto eby'omunda.
28
Okusaasira n'amazima biwonya kabaka: Era okusaasira kwe kuwanirira entebe ye.
29
Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe: N'abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.
30
Emiggo egiruma gimalawo obubi: N'enga zituuka mu bitundu eby'olubuto eby'omunda.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31