bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 19
Proverbs 19
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira ow'emimwa emikyamu era omusirusiru.
2
Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona.
3
Obusirusiru bw'omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; N'omutima gwe gunyiigira Mukama.
4
Obugagga bwongera emikwano mingi: Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe.
5
Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; N'oyo ayogera eby'okudyeka talirokoka.
6
Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi: Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo.
7
Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze.
8
Afuna amagezi ayagala emmeeme ye: Anyweza okutegeera aliraba ebirungi.
9
Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; Naye ayogera eby'obulimba alizikirira.
10
Okwekanasa tekusaanira musirusiru; Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya?
11
Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.
12
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.
13
Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi kwe kutonnya olutata.
14
Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15
Obugayaavu buleeta otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.
16
Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.
17
Asaasira omwavu awola Mukama, Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.
18
Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.
19
Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirigwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogw'okubiri.
20
Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse.
21
Mu mutima gw'omuntu mulimu okufumiitiriza kungi; Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunaanyweranga.
22
Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba.
23
Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.
24
Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.
25
Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu: Era buulirira alina okutegeera; era anaategeera okumanya.
26
Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
27
Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby'okumanya.
28
Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu.
29
Emisango gyategekerwa abanyoomi, N'emiggo gyategekerwa amabega g'abasirusiru.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31