bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 23
Proverbs 23
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go;
2
Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu.
3
Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba.
4
Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe.
5
Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga.
6
Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi:
7
Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe.
8
Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi.
9
Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo.
10
Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe:
11
Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe.
12
Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya.
13
Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa.
14
Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe.
15
Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange:
16
Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga.
17
Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde:
18
Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo.
19
Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.
20
Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama:
21
Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.
22
Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye.
23
Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera.
24
Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu.
25
Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26
Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange.
27
Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo.
28
Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu.
29
Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso?
30
Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule.
31
Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola:
32
Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa.
33
Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu.
34
Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti.
35
Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31