bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 24
Proverbs 24
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo:
2
Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima.
3
Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza:
4
N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.
5
Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza.
6
Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
7
Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango.
8
Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima.
9
Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu.
10
Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono.
11
Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga.
12
Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
13
Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go.
14
Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo.
15
Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu:
16
Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula.
17
Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga:
18
Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako.
19
Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi:
20
Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.
21
Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula.
22
Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi?
23
Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi.
24
Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga:
25
Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako.
26
Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa.
27
Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo.
28
Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo.
29
Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde.
30
Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera;
31
Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa.
32
Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa.
33
Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono:
34
Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31