bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Proverbs 27
Proverbs 27
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
1
Teweenyumirizanga bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala.
2
Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe; Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe.
3
Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye okweraliikirira kw'omusirusiru kubisinga byombi obuzito.
4
Obusungu bukambwe, n'ekiruyi mukoka; Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya?
5
Okunenya mu lwatu Kusinga obulungi okwagala okukisibwa.
6
Ebiwundu eby'omukwano byesigwa: Naye okunywegera kw'omulabe kuba kungi nnyo nnyini.
7
Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.
8
Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.
9
Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw'omu mwoyo gwe.
10
Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.
11
Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma.
12
Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.
13
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.
14
Eyeebaza mukwano gwe n'eddoboozi eddene, ng'agolokoka enkya mu makya, Kinaayitibwanga kikolimo gy'ali.
15
Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi, N'omukazi omuyombi bw'afaanana:
16
Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo, N'omukono gwe ogwa ddyo gulwana n'amafuta.
17
Ekyuma kiwagala kyuma; Bw'atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.
18
Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.
19
Ng'amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi, Bwe gutyo omutima gw'omuntu bwe gwolekera omuntu.
20
Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.
21
Entamu erongoosa ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.
22
Ne bw'osekula omusirusiru mu kinu n'omusekuzo mu kasooli omusekule, Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako.
23
Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:
24
Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna?
25
Omuddo omukalu gutwalibwa n'essubi eggonvu lirabika, N'emiddo egy'oku nsozi bagiyingiza.
26
Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro:
27
Era walibaawo amata ag'embuzi; aganaamalanga okukuliisa n'okuliisa ab'omu nnyumba yo, N'ebyokulya eby'abawala bo.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31