bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 1
Amos 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo bya Amosi, omu ku basumba b'e Tekowa. Bino byonna ebifa ku Yisirayeli Katonda yabiraga Amosi, nga Wuzziya ye kabaka wa Buyudaaya, ne Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Yisirayeli, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi.
2
Amosi yagamba nti: “Mukama awulugumira ku Lusozi Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu. Amalundiro g'abasumba gakala, n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Karumeeli guwotoka.”
3
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Damasiko bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza. Baabonyaabonya abantu b'e Gileyaadi mu bukambwe obungi.
4
Kyendiva nkozesa omuliro ku lubiri lwa kabaka Azayeeli, ne njokya ebigo bya kabaka Benadaadi.
5
Ndimenya ebisiba enzigi z'ekibuga Damasiko, ne mmalawo ab'omu Kiwonvu ky'e Aveni, n'omufuzi w'e Betedeni. Abantu b'omu Siriya balitwalibwa nga basibe mu nsi y'e Kiiri.”
6
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Gaaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu. 2:4-7; Zek 9:5-7
7
Kyendiva nkoleeza omuliro ku kigo ky'ekibuga Gaaza, ne gwokya amayumba gaakyo.
8
Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudoodi ne Asukelooni. Ndibonereza ekibuga Ekurooni, era n'Abafilistiya.”
9
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Tiiro bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, mu Edomu, ne batakuuma ndagaano ey'omukwano gye baakola nabo. 11:21-22; Luk 10:13-14
10
Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Tiiro, ne gwokya amayumba gaakyo.”
11
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayigganya baganda baabwe Abayisirayeli, ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne butakendeerako, ne babeera nabwo ennaku zonna. 35:1-15; Ob 1-14; Mal 1:2-5
12
Kyendiva nkoleeza omuliro ku kibuga Temani era gulyokya amayumba g'e Bozura.”
13
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Ammoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abali embuto.
14
Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Rabba ne gwokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga.
15
Kabaka waabwe aliwaŋŋangusibwa awamu n'abakungu be.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9