bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 9
Amos 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
1
Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'alutaari, n'alagira nti: “Kuba emitwe gy'empagi z'essinzizo, emiryango gikankane. Era gimenye, gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo, ndibattira mu lutalo. Tewaliba n'omu ku bo adduka, wadde awonawo.
2
Ne bwe balisima okutuuka emagombe, era ndibakwata ne mbaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu, era ndibawanulayo.
3
Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balinneekweka wansi mu buziba bw'ennyanja, era ndiragira ogusota gwamu ne gubabojja.
4
Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era ndiragira ne battirwa eyo. Mmaliridde kubakolako kabi, sso si kubakolera birungi.”
5
Mukama Katonda Nnannyinimagye, ye oyo akwata ku nsi n'ekankana, bonna abagiriko ne banakuwala, yonna n'etumbiira era n'ekka ng'Omugga Kiyira.
6
Mukama yazimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi g'omu nnyanja, n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama.
7
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, ndowooza ku bantu b'e Etiyopiya, nga bwe ndowooza ku mmwe. Naggya Abafilistiya mu Kafutoori, n'Abasiriya mu Kiri, nga bwe naggya mmwe mu nsi y'e Misiri.
8
Nze Mukama Katonda, kaakano neekaliriza obwakabaka buno obwa Yisirayeli obukola ebibi, era ndibusaanyaawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala bazzukulu ba Yakobo.
9
“Ndiragira era ne nkuŋŋaanya Abayisirayeli mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ekuŋŋaanyizibwa mu kakuŋŋunta, okuggyamu bonna abatalina mugaso.
10
Mu bantu bange, abo bonna aboonoonyi, era abagamba nti: ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera’ balifiira mu lutalo.”
11
“Olunaku lulituuka, ne nzizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. Ndiddaabiriza ebisenge by'ennyumba eyo, ne ngizzaawo nga bwe yali edda.
12
Olwo Abayisirayeli baliwangula ensi ya Edomu esigaddewo era n'amawanga gonna agaabeerako agange. Mukama alikola ekyo, bw'atyo bw'agamba.
13
“Ennaku zirituuka, obudde obw'amakungula g'eŋŋaano n'obw'okusogola emizabbibu ne butuuka, ng'obw'okusiga tebunnaggwaawo. Omwenge omuwoomu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna.
14
Era ndikomyawo abantu bange Abayisirayeli mu nsi yaabwe. Ebibuga byabwe ebyalekebwa awo ettayo, birizimbibwa ne babibeeramu. Balisimba emizabbibu, ne banywa omwenge gwayo. Balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.
15
Ndisenza abantu bange mu nsi gye nabawa, era tebaliddayo kugisengukamu.” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'ayogedde.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9