bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 2
Amos 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 3 →
1
Mukama agamba nti: “Abantu b'e Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayokya amagumba ga kabaka w'e Edomu, ne gafuuka evvu. Zef 2:8-11
2
Kyendiva nkoleeza omuliro ku nsi y'e Mowaabu, era gulyokya amayumba g'e Keriyooti. Abantu b'e Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, era nga bafuuwa eŋŋombe.
3
Ndisaanyaawo omufuzi w'e Mowaabu awamu n'abakungu bonna ab'omu nsi eyo.”
4
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza kubanga bagaanye amateeka gange, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga, bibawubisizza,
5
kyendiva nkoleeza omuliro ku Buyudaaya, ne gwokya amayumba g'omu Yerusaalemu.”
6
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina bukuusa, naye abatasobola kusasula mabanja, era abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto.
7
Balinnyirira abateeyinza, ng'abalinnyirira enfuufu, ne bagoba omwavu mu kkubo. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu.
8
Ku mabbali ga buli alutaari, bagalamira ku byambalo bye baggye ku baavu ng'omusingo. Mu Ssinzizo lya Katonda waabwe mwe banywera omwenge ogw'omutango gwe baggye ku bantu ababalinako amabanja.
9
“Sso ng'olw'okulumirwa mmwe abantu bange, nasaanyizaawo ddala Abaamori nga mulaba, abantu abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera.
10
Era nabaggya mmwe mu nsi ey'e Misiri, ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana okubayisa mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abaamori abo ebe yammwe.
11
Nalonda abamu ku batabani bammwe babe abalanzi, n'abamu ku bavubuka bammwe babe abawonge. Ekyo si bwe kiri, mmwe Abayisirayeli? Nze Mukama, nze njogedde.
12
Naye mwanywesa abawonge omwenge, ne mulagira abalanzi nti: ‘Temulanga.’
13
Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano.
14
Embiro tezirigasa baddusi, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'abazira tebalyewonya.
15
Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, abaddusi b'embiro tebalyewonya, wadde abeebagazi b'embalaasi okuwonya obulamu bwabwe.
16
Ku lunaku olwo, wadde n'abazira abasinga obuvumu balisuula ebyokulwanyisa ne badduka.” Mukama ye ayogedde.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9