bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 6
Amos 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
1
Zibasanze mmwe abali obulungi mu Siyooni, nammwe abatalina kye mweraliikirira ku lusozi lwa Samariya, mmwe abakungu mu ggwanga lya Yisirayeli, ekkulu mu mawanga gonna, mmwe, abantu gye bajja okunoonya obuyambi.
2
Mugende mutunuulire ekibuga Kalune. Muve eyo mulage mu kibuga ekikulu Hamati, ate muserengete mu Gaati, ekibuga ky'Abafilistiya. Ebibuga ebyo bisinga obwakabaka bwa Buyudaaya n'obwa Yisirayeli obulungi? Oba bisinga ensi yammwe obugazi?
3
Mugaanye okukkiriza nti olunaku olw'akabi lunaatera okutuuka, kyokka ne mukola ebirusembeza okumpi!
4
Ziribasanga mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu magana gammwe.
5
Muyimbira ku ddoboozi ery'ennanga ennyimba ez'okwegayaaza, era mweyiiyiza ebivuga nga Dawudi bwe yakola.
6
Munywera Omwenge mu mpaawo, era mwesiiga omuzigo ogusingira ddala obulungi, naye ne mutalumirwa kuzikirira kwa Yisirayeli.
7
Kale mmwe mulikulemberamu olunyiriri lw'abalitwalibwa mu buwaŋŋanguse. N'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu, birikoma.
8
Mukama, Katonda Nnannyinimagye alayidde nti: “Nkyawa okwekulumbaza kw'Abayisirayeli, ne ntamwa amayumba gaabwe. Kyendiva mpaayo eri omulabe ekibuga kyabwe ekikulu, ne byonna ebikirimu.”
9
Abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu, balifa.
10
Owooluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti: “Wakyaliyo omulala ali naawe?” Oli aliddamu nti: “Nedda.” Ono aligamba nti: “Sirika, tuleme wadde okwatula erinnya lya Mukama.”
11
Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa.
12
Embalaasi ziddukira ku lwazi? Abantu balimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu.
13
Musanyuka olw'okuwamba ekibuga Lodebari, era mwewaana nti: “Twefunidde ekibuga Karinayimu olw'amaanyi gaffe.”
14
Mukama Katonda Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nja kusindika ab'eggwanga eddala, beefuge ensi yammwe. Balibabonyaabonya mmwe, okuviira ddala mu Hamati, okutuuka ku kagga ak'e Araba.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9