bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 7
Amos 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
1
Bino Mukama Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka ebibinja by'enzige, nga baakamala okusala omuddo gwa kabaka, era nga gutandika okuddamu okumera.
2
Bwe zaamala okulya buli kimera kyonna mu nsi, ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, sonyiwa! Abayisirayeli banaasobola batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!”
3
Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti: “Ekyo tekijja kutuukirira.”
4
Bino Mukama, Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Omuliro ogwo ne gukaliza obuziba bw'ennyanja, ne gutandika n'okwokya olukalu.
5
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda, Abayisirayeli banaayinza batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!”
6
Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti: “Era n'ekyo tekijja kutuukirira.”
7
Bino Mukama bye yandaga: nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekisenge, ekyazimbibwa nga bapimisa omuguwa ogugera. Yali akutte omuguwa ogugera.
8
N'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Omuguwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti: “Nkozesa omuguwa ogugera, okulaga Abayisirayeli nti: bali ng'ekisenge ekitateredde. Sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza.
9
Ebifo ebigulumivu bazzukulu ba Yisaaka mwe basinziza, birizikirizibwa. Ne zaalutaari za Yisirayeli zirisaanyizibwawo. Era ab'ennyumba ya kabaka Yerobowaamu, ndibattira mu lutalo.”
10
Awo Amaziya kabona w'e Beteli, n'atumira Yerobowaamu, kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Amosi akwekobera mu Bayisirayeli. Byonna by'ayogera, eggwanga teriyinza kubigumiikiriza,
11
kubanga Amosi agamba nti: ‘Yerobowaamu wa kufiira mu lutalo. Era Abayisirayeli, bajja kuggyibwa mu nsi yaabwe, batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ”
12
Awo Amaziya n'agamba Amosi nti: “Ggwe omulanzi, genda, ddayo mu Buyudaaya, okolere eyo ogw'obulanzi, era eyo gy'oba ofuna emmere gy'olya.
13
Naye toddangamu kukolera gwa bulanzi wano mu Beteli, kubanga kino kye kifo, kabaka mw'asinziza, era lye Ssinzizo ly'eggwanga.”
14
Awo Amosi n'addamu Amaziya nti: “Saali mulanzi, wadde omugoberezi w'abalanzi, wabula nali mulunzi era nga ndabirira miti emisikamoreya.
15
Naye Mukama yanzigya ku mulimu gwange ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Abayisirayeli.’
16
Kale kaakano wulira Mukama ky'agamba. Oŋŋamba nti: ‘Tolanga bivumirira Bayisirayeli, toyogera bikosa bazzukulu ba Yisaaka.’
17
Mukama kyava agamba nti: ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga. Batabani bo ne bawala bo balittirwa mu lutalo. Ettaka lyo lirigabanibwamu ne liweebwa abalala. Naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Abayisirayeli tebalirema kuggyibwa mu nsi yaabwe, ne bawaŋŋangusibwa.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9