bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 8
Amos 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
1
Bino, Mukama Katonda bye yandaga: ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya.
2
Mukama n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu bange Abayisirayeli banaatera okuzikirizibwa. Sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza.
3
Ku lunaku olwo, ennyimba ez'omu Ssinzizo, zirifuuka kutema miranga. Emirambo giriba mingi. Baligisuula mu buli kifo nga basirise.”
4
Muwulire kino, mmwe abalinnyirira bakateeyamba, era abasaanyaawo abaavu ab'omu ggwanga lino,
5
nga mugamba nti: “Ennaku enkulu zinaggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? Ne Sabbaato eneggwaako ddi, tulyoke tuddemu okutunda? Olwo tulyoke tukendeeze ekipimo, ate twongeze emiwendo, tukumpanye nga tukozesa minzaani ezitapima kituufu.
6
Tutunde ebisusunku by'eŋŋaano. Tulabe abaavu abatasobola kusasula mabanja, wadde okusasulira omugogo gw'engatto, tubagule bafuuke abaddu baffe.”
7
Mukama, Katonda wa Yisirayeli alayidde nti: “Mazima siryerabira wadde ekimu ku bikolwa byabwe.
8
Ensi erikankana olw'ekyo, era buli muntu agirimu, alinakuwala. Yonna eritabanguka n'etumbiira, era n'ekka ng'Omugga Kiyira.
9
Ku lunaku olwo, ndiragira enjuba n'egwa mu budde obw'ettuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde.
10
Embaga zammwe, ndizifuula za kukungubaga, n'ennyimba zammwe ez'essanyu, ndizifuula kutema miranga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebikutiya, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lwonna lulibeera lwa bulumi.
11
“Ekiseera kijja kutuuka, nsindike enjala mu nsi. Abantu balirumwa enjala naye nga si ya mmere. Balirumwa ennyonta, naye nga si ya mazzi, wabula nga ya kuwulira Kigambo kya Mukama. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde.
12
Balitambula okuva ku Nnyanja Enfu okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati, n'okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Era balidda eno n'eri, nga banoonya ekigambo kya Mukama. Naye tebalikizuula.
13
Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta.
14
Abo abalayira balubaale b'e Samariya, ne bagamba nti: ‘Lubaale w'e Daani omulamu!’ Oba nti: ‘Lubaale w'e Beruseba omulamu!’ Baligwa, ne bataddamu kuyimuka.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9