bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 3
Amos 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
1
Mmwe Abayisirayeli, muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko mmwe eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri. Agamba nti:
2
“Mmwe mwekka mu mawanga gonna agali ku nsi, mmwe naluŋŋamya. Kyendiva mbabonereza olw'ebibi byammwe byonna.”
3
Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kukkaanya?
4
Empologoma a ewulugumira mu kibira nga terina ky'eyizze? Empologoma ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte?
5
Ekinyonyi kikwasibwa mu mutego nga tewali kyakulya kye bakiteze? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde?
6
Bafuuyira eŋŋombe z'olutalo mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga nga Mukama si ye akasindise?
7
Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze kukitegeezaako abaweereza be abalanzi.
8
Empologoma bw'ewuluguma, ani atatya? Mukama Katonda bw'ayogera, ani ayinza obutalangirira bubaka bwe?
9
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudoodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z'e Samariya, mulabe omuvuyo omungi n'ejjoogo ebikirimu.”
10
Mukama agamba nti: “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.
11
Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”
12
Mukama agamba nti: “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri, oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, n'Abayisirayeli ababeera mu Samariya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omunene.
13
Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘Muwulire era mulabule bazzukulu ba Yakobo.’
14
Ku lunaku lwe ndibonereza eggwanga lya Yisirayeli olw'ebibi byalyo, ndisaanyaawo zaalutaari ez'e Beteli. Ensonda zaazo zonna zirimenyebwa ne zigwa wansi.
15
Ndizikiriza amayumba, ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo, n'amayumba amanene galizikirizibwa.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9