bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 4
Amos 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
1
Muwulire kino, mmwe abakazi b'e Samariya, abagezze ng'ente z'e Basani, mmwe abanyigiriza abo abateeyinza, era abakamula abaavu, mmwe abagamba babbammwe nti: “Muleete omwenge tunywe.”
2
Nga Mukama Katonda bw'ali omutuukirivu, alayidde nti: “Ennaku zijja kutuuka, lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja.
3
Balibawalula nga babayisa mu bituli ebiriraanyeewo, ebimogoddwa mu bisenge, ne babasuula mu Harumooni.” Mukama ye ayogedde.
4
Mukama Katonda agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, mujje e Beteli mukole ebibi, mujje e Gilugaali mwongere okwonoona. Muleete ebitambiro byammwe buli nkya, n'ebitundu eby'ekkumi buli nnaku ssatu.
5
Muweeyo ekirabo eky'emigaati egizimbulukusiddwa, gyokebwe nga mwebaza Katonda, era mulangirire ebirabo bye muwaayo nga mweyagalidde. Mubirangirire, kubanga ekyo kye musiima okukola.
6
“Naleeta enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula ne mu byalo byammwe. Naye era ne mutadda gye ndi.
7
Naziyiza enkuba okutonnya, ng'ekyabula emyezi esatu okutuuka ku makungula. Natonnyesa enkuba mu kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnya mu kitundu ekimu, ekitundu ekirala ne kikala.
8
Ab'omu bibuga ebibiri oba ebisatu baatambulanga ne balaga mu kibuga ekirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kuloga nnyonta. Naye era ne mutadda gye ndi.
9
Nababonereza nga nsindika okugengewala n'obukuku mu birime byammwe. Enzige zaalya ennimiro zammwe ez'emmere n'ez'emizabbibu, n'emiti gyammwe egy'emitiini n'egy'emizayiti. Naye era ne mutadda gye ndi.
10
“Nasindika kawumpuli mu mmwe nga gwe nasindika mu b'e Misiri. Natta abavubuka bammwe mu lutalo, embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe. Naye era ne mutadda gye ndi.
11
“Nazikiriza abamu mu mmwe, nga bwe nazikiriza ab'e Sodoma ne Gomora. Mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro. Naye era ne mutadda gye ndi.
12
Kale mmwe Abayisirayeli, nja kubabonereza. N'olwekyo mweteeketeeke okunsisinkana.”
13
Katonda ye yabumba ensozi, era ye yatonda embuyaga, era ye ategeeza abantu ye by'alowooza. Obudde obubadde obw'emisana ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye atambulira ku ntikko z'ensozi. Erinnya lye ye Mukama, Katonda Nnannyinimagye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9