bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Amos 5
Amos 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
1
Mmwe Abayisirayeli, muwulire bino bye nnyimba okubakungubagira:
2
“Yisirayeli omuwala embeerera agudde, taliddayo kuyimuka. Agudde wansi mu nsi ye, anaamuyimusa tewali!”
3
Mukama Katonda agamba nti: “Ekibuga ky'omu Yisirayeli ekisindika abalwanyi olukumi, kikumi bokka be balikomawo. Ekyo ekisindika ekikumi, abalwanyi kkumi bokka be balikomawo.”
4
Mukama agamba Abayisirayeli nti: “Mujje gye ndi, munaabanga balamu.
5
Naye temugenda Beruseba kusinza. Temugenda Gilugaali, kubanga abaamu, ba kutwalibwa mu busibe. Temunnoonyeza Beseli, kubanga Beteli kya kuggwaawo.”
6
Mugende eri Mukama, munaabanga balamu. Mukama aleme kubuubuuka ng'omuliro ku Bayisirayeli, ne gwokya abantu b'e Beteli, nga tewali ayinza kuguzikiza.
7
Zibasanze mmwe, abatasala mazima, era abatali benkanya.
8
Mukama ye yatonda emmunyeenye zi Puleyade ne Oriyoni. Ekibadde ekizikiza ye akifuula okuba omusana. N'obudde obubadde obw'emisana, ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama.
9
Azikiriza ab'amaanyi awamu n'ebigo byabwe.
10
Mmwe mukyawa oyo alamula obulungi mu mbuga z'amateeka, era mutamwa oyo ayogera amazima.
11
Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja ge muzimbye, temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye, temulinywa mwenge ogugivaamu.
12
Mmanyi ebibi byammwe we byenkana obungi, n'emisango gye muzzizza, we gye nkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era mugoba emisango gy'abaavu, ne mutabasalira mazima.
13
Omugezi kyava asirika busirisi mu biseera bino, kubanga biseera bibi.
14
Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabanga abalamu. Olwo Mukama, Katonda Nnannyinimagye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe.
15
Mukyawenga ebibi, mwagalenga ebirungi. Musalenga amazima mu mbuga zammwe. Oboolyawo Mukama, Katonda Nnannyinimagye alikwatirwa ekisa Abayisirayeli abalisigalawo.
16
Mukama, Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era wonna mu makubo, baligamba nti: ‘Zitusanze!’ Baliyita abalimi okukungubagira awamu n'abo abasasulibwa olw'okukungubagira abafu.
17
Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nnimiro zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe.” Mukama ye ayogedde.
18
Zibasanze mmwe abalindirira olunaku lwa Mukama. Mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala.
19
Kiriba ng'omuntu bw'adduka empologoma, ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge, omusota ne gumubojja.
20
Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, lwa kizikiza ekikutte, omutali katangaala.
21
Mukama agamba nti: Nkyawa era nnyooma embaga zammwe, era sisanyukira nkuŋŋaana zammwe.
22
Wadde mumpa ebitambiro byammwe ebyokebwa, oba ebirabo byammwe eby'emmere ey'empeke, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze mutambira.
23
Munzigyeeko oluyoogaano lw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe.
24
Naye muleke obwenkanya bukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu bube ng'omugga ogujjula ne gubooga.
25
“Mmwe Abayisirayeli, mwampanga ebitambiro n'ebirabo mu myaka amakumi ana, gye mwamala mu ddungu?
26
Naye kaakano nga bwe musinzizza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sakkuti, kabaka lubaale wammwe, n'ebya Kayiwaani, emmunyeenye lubaale wammwe, mulitwala ebifaananyi ebyo
27
bwe ndibawaŋŋangusiza eyo, okuyisa e Damasiko.” Bw'atyo Mukama bw'agamba. Erinnya lye ye Katonda Nnannyinimagye.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9