bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 1
Esther 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
1
Mu mirembe gya Ahaswero, obwakabaka bwa Ahaswero oyo bwali buva e Buyindi okutuuka e Kuusi, nga bulimu ebitundu by'amatwale kikumi mu abiri mu musanvu.
2
Mu kiseera ekyo, entebe ye ey'obwakabaka yabeeranga mu kibuga ekikulu Susa ekya Perusiya.
3
Awo Kabaka Ahaswero, mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'agabula abafuzi n'abaami be bonna ekijjulo. Ab'amagye ga Perusiya ne Mediya, awamu n'abakungu n'abaami b'amasaza, nabo baaliwo.
4
Kabaka n'ayolesa obugagga n'ekitiibwa eby'obwakabaka bwe, okumala ennaku nnyingi, ezaawerera ddala ekikumi mu ekinaana.
5
Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, kabaka n'agabula abantu be bonna, abagagga n'abaavu, abaali mu kibuga ekikulu Susa, ekijjulo ekyamala ennaku omusanvu, nga kigabulirwa mu kidaala ekyakolebwa mu lubiri lwe.
6
Ekidaala ekyo kyali kitimbiddwa entimbe ez'olugoye olweru n'olwa bbululu, nga zisibiddwa n'empeta eza ffeeza, n'emiguwa egya kakobe, ku mpagi ez'amayinja aganyirira. Ebitanda ebya zaabu ne ffeeza byali biteekeddwa ku mayinja amaaliire agenjawulo, aganyirira.
7
Omwenge gwagabulirwa mu bikopo bya zaabu ebyenjawulo, nga tewali wadde ebibiri ebifaanagana, era kabaka yagabula omwenge mungi ddala.
8
Tewaali tteeka liwaliriza muntu kunywa, kubanga kabaka yalagira abaweereza bonna ab'omu lubiri, buli omu okumuwa nga bw'ayagala.
9
Mu kiseera kye kimu, Nnaabagereka Vasuti naye yali agabula abakazi mu lubiri lwa Kabaka Ahaswero.
10
Ku lunaku olw'omusanvu olw'ekijjulo, kabaka bwe yanywa omwenge n'acamuka, n'ayita abalaawe be omusanvu: Mehumaani, Bizuta, Haruboona, Biguta, Abaguta, Zetari, ne Karukasi, abaamuweerezanga.
11
N'abalagira okugenda okuleeta Nnaabagereka Vasuti, ajje ng'atikkidde engule ku mutwe. Nnaabagereka ono yali mukazi mulungi mubalagavu. Kabaka n'ayagala amulage abakungu be n'abagenyi be bonna, bamulabe nga bw'ali omulungi.
12
Naye abalaawe bwe baategeeza Nnaabagereka Vasuti ekyo kabaka ky'alagidde, ye n'agaana okujja. Kino ne kisunguwaza nnyo kabaka, n'asuukiira olw'obusungu.
13
Yali mpisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'ebiragiro. Awo n'ayita abawi b'amagezi, kubanga be bamanyi ekisaana okukolebwa.
14
Be yasinganga okwebuuzaako baali Karisena, Setari, Adimata, Tarusiisi, Meresi, Marisena, ne Memukani, abaami omusanvu aba Perusiya ne Mediya, abaali basinga okuba n'ebifo ebyawaggulu mu bwakabaka.
15
N'abagamba nti: “Nze, Kabaka Ahaswero, nasindise abalaawe eri Nnaabagereka Vasuti, nga nnina kye mmulagira, naye yagaanye okukigondera! Kale amateeka gagamba gatya? Era kiki ekiteekwa okukolebwa ku Nnaabagereka ono?”
16
Awo Memukani n'ategeeza kabaka n'abaami be nti: “Nnaabagereka Vasuti tanyoomye kabaka yekka, naye n'abaami ba kabaka bonna. Mu mazima, anyoomye buli musajja mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero.
17
Buli mukazi mu bwakabaka, ajja kutandika okunyooma bba, amangu ddala ng'awulidde Nnaabagereka ky'akoze. Bajja kugamba nti: ‘Kabaka Ahaswero yalagira Nnaabagereka Vasuti okujja gy'ali, Vasuti n'agaana.’
18
Abakyala b'abaami bo mu Perusiya ne Mediya, bwe banaawulira nga Nnaabagereka bwe yeeyisizza, bajja kukitegeeza babbaabwe nga n'olunaku terunnaziba. Abakyala buli wantu banaaba tebakyassaamu babbaabwe kitiibwa, era abasajja bajja kusunguwalira bakazi baabwe.
19
Bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, fulumya ekirangiriro ekigamba nti: ‘Vasuti taliddayo kulabika mu maaso ga Kabaka Ahaswero.’ Lagira kiwandiikibwe mu mateeka ga Perusiya ne Mediya, kireme kukyusibwa ennaku zonna. Ate ekifo kye eky'Obwannaabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.
20
Ekiwandiiko kyo bwe kinaabunyisibwa wonna mu bwakabaka bwo buno obunene bwe butyo, buli mukazi ajja kussangamu bba ekitiibwa, bba k'abe mugagga oba mwavu.”
21
Kabaka n'abaami be ne basiima ekirowoozo ekyo, era kabaka n'akola nga Memukani bwe yateesa.
22
Ekiwandiiko ne kiweerezebwa mu buli kitundu ekiri mu matwale ga kabaka, mu lulimi ne mu mpandiika eya buli kitundu, kisobozese buli musajja okubeera n'obuyinza, era n'okukozesa olulimi lw'eggwanga lye mu maka ge.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10