bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 2
Esther 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
1
Kabaka Ahaswero bwe yamala okukkakkana obusungu, n'asigala ng'alowooza ku kikolwa kya Vasuti, ne ku kirangiriro kye yali amufulumizzaako.
2
Awo abaweereza ba kabaka, abaali okumpi naye, ne bagamba nti: “Ayi Ssaabasajja, bakunoonyeze abawala abato abalungi era embeerera.
3
Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi.
4
Olwo nno onoosobola okulondamu omuwala abasinga bonna, omufuule Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Kabaka n'asiima amagezi ago era n'agakolerako.
5
Mu kibuga ekikulu Susa, mwalimu Omuyudaaya ng'ayitibwa Moruddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi ow'omu Kika kya Benyamiini.
6
Moruddekaayi yali omu ku abo abaanyagibwa okuva mu Yerusaalemu, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni bwe yawangula era n'awaŋŋangusa Yekoniya, kabaka wa Buyudaaya.
7
Yalina omuwala Esiteeri, muganda we gw'azaala, omuwala oyo ng'ayitibwa Hadasa mu Lwebureeyi. Yali alabika bulungi, nga mubalagavu. Bazadde be bwe baafa, Moruddekaayi n'amutwala n'amwola nga muwala we yennyini.
8
Ekiragiro kya kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi ne baleetebwa mu kibuga ekikulu Susa. Mu abo ne Esiteeri mwe yajjira. Era naye n'ateekebwa mu lubiri, mu mikono gya Hegayi eyali alabirira abakazi.
9
Omuwala oyo n'asanyusa nnyo Hegayi, Hegayi n'amuyisa bulungi n'ekisa. Teyalwa, n'atandika okumufumbirira, ng'asiimuulwa n'omuzigo, n'okuweebwa emmere ey'enjawulo. N'ateekebwa mu kifo ekisinga obulungi mu kisulo ky'abazaana, ng'alina n'abawala musanvu abaalondebwa mu b'omu lubiri okumuweerezanga.
10
Esiteeri yali tayogedde ggwanga lye, wadde amaka mw'asibuka, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde okubisirikira.
11
Buli lunaku, Moruddekaayi yeeyisaayisanga mu maaso g'oluggya lw'ekisulo ky'abazaana, asobole okumanya ebifa ku muwala we.
12
Oluwalo olwa buli muwala okutwalibwa eri Kabaka Ahaswero nga terunnatuuka, omuwala yamalanga kufumbirirwa okumala omwaka mulamba, ng'etteeka ku bakazi bwe lyali: emyezi mukaaga ng'asiimuulwa n'omuzigo ogwa mmira, ate emyezi emirala omukaaga ng'asiimuulwa n'ebyobuwoowo, era n'ebirala ebikola ku bakazi.
13
Omuwala bwe yabanga agenda eri kabaka mu ngeri eyo, buli ky'asaba ave nakyo mu nnyumba y'abazaana, okugenda mu lubiri lwa kabaka, kyamuweebwanga.
14
Yatwalibwanga ewa kabaka akawungeezi, ate enkeera n'aggyibwayo, n'atwalibwa mu nnyumba y'abazaana endala, erabirirwa Saasugazi omulaawe. Omuwala teyaddangayo ewa kabaka, okuggyako nga kabaka amutumizza ng'amuyita n'erinnya.
15
Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako.
16
Mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi ogwa Tebeti, Esiteeri n'atwalibwa mu lubiri eri Kabaka Ahaswero.
17
Awo kabaka n'ayagala Esiteeri okusinga abakazi bonna. N'amusiima era n'amuganza okukira abawala abalala. Bw'atyo n'amutikkira engule ey'obwakabaka, era n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.
18
Awo kabaka n'akola embaga nnene eyaliko abaami be bonna, n'abaweereza be ng'awasizza Esiteeri. Kabaka n'alangirira olunaku olw'okuwummula mu matwale ge, era n'agaba n'ebirabo bingi ebyatuukana n'ekitiibwa kye nga kabaka.
19
Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moruddekaayi yali atudde ku mulyango gwa kabaka.
20
Esiteeri yali tayogeranga maka mw'asibuka, wadde eggwanga lye, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde obutabuulirako muntu n'omu. Esiteeri n'amugondera ne mu kino, nga bwe yamugonderanga mu byonna mu buto, ng'akyali mu maka ge.
21
Mu kiseera ekyo, Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigitaana ne Teresi abaggazi, ne basunguwala, ne bakola n'olukwe okutemula Kabaka Ahaswero.
22
Moruddekaayi n'agwa mu lukwe olwo, n'alutegeezaako Nnaabagereka Esiteeri, Esiteeri n'abuulira kabaka mu linnya lya Moruddekaayi.
23
Bwe baabuuliriza, ne basanga nga bwe kityo bwe kiri. Abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Ne kiwandiikibwa, nga kabaka alaba, mu kitabo ky'ebibaawo buli lunaku.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10