bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 6
Esther 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
1
Ekiro ekyo, kabaka n'abulwa otulo, n'alagira okumuleetera ekitabo eky'ebigwawo buli lunaku, ebigwana okujjukirwa, ne babimusomera.
2
Ne basanga nga kiwandiikiddwa, nga Moruddekaayi bwe yaloopa olukwe, olwakolebwa Bigitaana ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abaggazi, abaagezaako okutemula Kabaka Ahaswero.
3
Kabaka n'abuuza nti: “Kitiibwa ki na bukulu ki Moruddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Tewali kyali kimuweereddwa.”
4
Kabaka n'abuuza nti: “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Hamani yali yaakayingira mu luggya olw'ebweru olw'omu lubiri, ng'azze okusaba kabaka amuwe Moruddekaayi awanikibwe ku kalabba, ke yali amaze okukola.
5
Abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Hamani ye ali mu luggya.” Kabaka n'agamba nti: “Ayingire.”
6
Awo Hamani n'ayingira era kabaka n'amugamba nti: “Kiki ekigwanidde okukolerwa omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa?” Hamani n'alowooza mu mutima gwe nti: “Ani kabaka gwe yandyagadde okuwa ekitiibwa okusinga nze.”
7
Awo Hamani n'agamba kabaka nti: “Omuntu kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa,
8
baleete ebyambalo bya kabaka bye yali ayambaddemu, n'embalaasi kabaka gye yali yeebagaddeko, era etikkiddwa ku mutwe engule ey'obwakabaka.
9
Ebyambalo ebyo n'embalaasi, bikwasibwe omu ku bakungu ba kabaka abasingira ddala ekitiibwa, amwambaze ebyambalo ebyo, era amukulembere ng'amwebagazza embalaasi, amuyise mu kibuga wakati, agende ng'alangirira nti: ‘Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!’ ”
10
Awo kabaka n'agamba Hamani nti: “Yanguwa oleete ebyambalo n'embalaasi, Moruddekaayi Omuyudaaya omuwe ekitiibwa ekyo. Buli kyonna ky'oyogedde, ky'oba omukolera ddala obutalekaayo n'ekimu. Ojja kumusanga ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.”
11
Awo Hamani n'aleeta ebyambalo n'embalaasi n'ayambaza Moruddekaayi, n'amwebagaza embalaasi, n'amukulembera okumuyisa mu kibuga wakati, ng'agenda alangirira nti: “Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!”
12
Ebyo bwe byaggwa, Moruddekaayi n'akomawo ku mulyango gwa kabaka. Naye Hamani n'ayanguwa okuddayo ewuwe ng'anakuwadde, era nga yeebisse omutwe gwe.
13
Hamani n'abuulira mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna, buli kintu ekyali kimutuuseeko. Awo abasajja abagezi, ne Zeresi mukyala we, ne bamugamba nti: “Moruddekaayi oyo, nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, bw'aba nga wa mu lulyo lwa Bayudaaya, tojja kumusobola, wabula ojja kweyongera bweyongezi okutoowazibwa.”
14
Awo bwe baali nga bakyayogera, abalaawe b'omu lubiri ne bajja mu bwangu okutwala Hamani ku kijjulo, Esiteeri kye yali afumbye.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10