bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 5
Esther 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
1
Ku lunaku olwokusatu, Esiteeri n'ayambala ebyambalo bye eby'Obwannaabagereka, n'agenda n'ayimirira mu luggya olwomunda olw'olubiri lwa kabaka, ng'atunuulidde ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka mu lubiri, ng'atunudde eri omulyango gw'olubiri.
2
Kabaka bwe yalaba Nnaabagereka Esiteeri ng'ayimiridde wabweru, n'amusanyukira, n'amugololera omuggo gwe ogwa zaabu gwe yali akutte. Esiteeri n'asembera awali kabaka n'akwata ku musa gw'omuggo gwa kabaka.
3
Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'oyagala? Era kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
4
Esiteeri n'amuddamu nti: “Singa osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza okujja ne Hamani olwaleero ku kijjulo kye nkufumbidde.”
5
Kabaka n'agamba nti: “Mwanguye Hamani, tukole nga Esiteeri bw'agambye.” Awo kabaka ne Hamani ne bagenda ku kijjulo Esiteeri kye yali afumbye.
6
Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nti: “Kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
7
Esiteeri n'addamu nti: “Kye njagala era kye nsaba kye kino:
8
bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, ayi Ssaabasajja, era oba ng'osiima okumpa kye njagala, n'okutuukiriza kye nsaba, ayi Ssaabasajja, kale kkiriza ggwe ne Hamani okujja enkya ku kijjulo kye nnaabafumbira. Olwo enkya lwe nnaakola nga bw'ogambye, ayi Ssaabasajja.”
9
Hamani n'ava ku kijjulo nga musanyufu era ng'ajaguza mu mutima gwe. Naye bwe yasanga Moruddekaayi ng'ali ku mulyango gw'olubiri, n'atayimuka wadde okulaga akabonero konna akamussaamu ekitiibwa ng'ayitawo, Hamani n'amusunguwalira nnyo.
10
Kyokka n'afuga obusungu bwe, n'addayo eka. Awo n'ayita mikwano gye ne bajja mu nnyumba ye, n'agamba ne mukyala we Zeresi okubeegattako.
11
Hamani n'abeenyumiririzaako olw'obugagga bwe, n'abaana ab'obulenzi b'alina, n'engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu, okumuwa ekifo ekikulu, ekimufudde omuntu omukulu okusinga abakungu abalala bonna.
12
Ne yeeyongera okubagamba nti: “N'ekisinga byonna, kwe kulaba nga Nnaabagereka Esiteeri, yayise nze nzekka okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yafumbye. Era n'enkya ampise wamu ne kabaka.
13
Kyokka bino byonna tebingasa nga nkyalaba Omuyudaaya oyo Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.”
14
Mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna ne bamuwa amagezi nga bagamba nti: “Zimbisa akalabba ka mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugulumivu, enkya ku makya osabe kabaka, Moruddekaayi awanikibweko afe, olwo osobole okugenda ku kijjulo ne kabaka ng'oli musanyufu.” Hamani n'alowooza nti ago gaali magezi malungi. Bw'atyo n'azimbisa akalabba.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10