bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 8
Esther 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
1
Ku lunaku olwo, Kabaka Ahaswero n'awa Nnaabagereka Esiteeri ebintu byonna ebyali ebya Hamani, omulabe w'Abayudaaya. Esiteeri n'abuulira kabaka nga Moruddekaayi bwe yali amulinako oluganda, era okuva olwo, Moruddekaayi n'akkirizibwa okujjanga mu maaso ga kabaka.
2
Kabaka n'anaanula empeta ye eriko akabonero, gye yaggya ku Hamani, n'agiwa Moruddekaayi. Esiteeri n'akwasa Moruddekaayi obuvunaanyizibwa obw'okulabirira ebintu byonna ebyali ebya Hamani.
3
Awo Esiteeri n'addamu okwogera ne kabaka. N'avuunama wansi w'ebigere bya kabaka nga bw'akaaba amaziga, n'amwegayirira okuziyiza entegeka ey'akabi era n'olukwe, Hamani asibuka mu Agagi, bye yali akoledde Abayudaaya.
4
Awo kabaka n'agololera Esiteeri omuggo gwe ogwa zaabu. Esiteeri n'asituka, n'ayimirira mu maaso ga kabaka,
5
n'agamba nti: “Bw'oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, era bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'olaba nga kituufu, era nga nsiimibwa mu maaso go, bawandiike ekirangiriro ekiziyiza ebbaluwa za Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi, ze yawandiika okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abali mu bitundu byonna eby'obwakabaka.
6
Kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba akabi nga kajjira abantu bange? Oba nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba baganda bange nga bazikirizibwa?”
7
Kabaka Ahaswero n'agamba Nnaabagereka Esiteeri ne Moruddekaayi Omuyudaaya nti: “Kaakano mmaze okuwanika Hamani ku kalabba olw'okuyigganya Abayudaaya, era mpadde Esiteeri ebintu byonna ebibadde ebya Hamani.
8
Naye ekirangiriro ekimaze okuweebwa mu linnya lya kabaka, ne kissibwako n'akabonero k'empeta ya kabaka, tekiyinza kujjululwa. Wabula muyinza okuwandiikira Abayudaaya buli kye musiima, mu linnya lyange, musseeko n'akabonero k'empeta ya kabaka.”
9
Kino kyaliwo ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani. Moruddekaayi n'ayita abawandiisi ba kabaka, n'abawa ebigambo eby'okuwandiika mu bbaluwa ezaawandiikirwa Abayudaaya n'abaami bonna, abaali bafuga ebitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu, okuva e Buyindi okutuuka e Kuusi. Ebbaluwa ne ziwandiikirwa buli kitundu mu lulimi lwakyo n'empandiika yaakyo, n'Abayudaaya ne bawandiikirwa mu lulimi lwabwe mu mpandiika yaabwe.
10
Moruddekaayi n'awandiika ebbaluwa zino mu linnya lya kabaka, n'assaako akabonero k'empeta ya kabaka. Ne zitwalibwa mangu ababaka abeebagadde embalaasi ezidduka ennyo, ezakozesebwanga emirimu gya kabaka, era ezaggyibwa mu bisibo bye.
11
Mu bbaluwa ezo, kabaka n'akkiriza Abayudaaya abali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala amagye gonna aga buli ggwanga oba ekitundu, agaba gabalumbye bo, ne bakazi baabwe, era n'abaana baabwe abato. Bayinza n'okwetwalira ebibadde ebintu eby'abalabe baabwe.
12
Ekiragiro ekyo kyali kya kukola mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari.
13
Ebyali mu kirangiriro, byali bya kulangirirwa ng'etteeka mu buli kitundu, n'okumanyisibwa eri buli muntu, okusobozesa Abayudaaya okweteekateeka okuwoolera eggwanga ku balabe baabwe, ng'olunaku olwo lutuuse.
14
Kabaka n'alagira ababaka, ne beebagala embalaasi ze ezidduka ennyo, ne bagenda. Etteeka ne lirangirirwa ne mu kibuga ekikulu Susa.
15
Awo Moruddekaayi n'ava ewa kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya bbululu n'ebyeru, ng'asuulidde omunagiro ogw'olugoye olwa kakobe, era ng'ayambadde n'engule eyeekitiibwa eya zaabu. Awo abantu mu nguudo z'ekibuga Susa ne bakuba emizira, ne baleekaana olw'essanyu.
16
Awo Abayudaaya ne baba bulungi, ne basanyuka, ne bajaguza, era ne baba n'ekitiibwa.
17
Mu buli kibuga ne mu buli kitundu ekirangiriro kya kabaka gye kyasomebwanga, ng'Abayudaaya baba n'olunaku olw'okuwummula, nga basanyuka era nga bajaguza. Abantu b'amawanga amalala bangi ne batuuka n'okufuuka Abayudaaya, kubanga olwo Abayudaaya baali bafuuse abantu abatiisa.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10