bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 9
Esther 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
1
Awo olunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, olwali olw'okutuukiririzaako ekiragiro n'etteeka kabaka bye yawa, era abalabe b'Abayudaaya lwe baali basuubira okubawangulirako bwe lwatuuka, ebintu ne bikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abalabe baabwe.
2
Mu bifo ebibeeramu Abayudaaya, mu bibuga eby'omu matwale ga Kabaka Ahaswero, Abayudaaya ne bakuŋŋaana okulwanyisa buli muntu eyagezaako okubakolako akabi. Wonna wonna abantu ne batya Abayudaaya, era ne wataba ayinza kubalwanyisa.
3
Abaali mu bifo ebitongole: abafuzi n'abaami b'ebitundu, awamu n'abakungu ba kabaka, bonna abo ne batuuka n'okuyamba Abayudaaya, olw'okutya Moruddekaayi.
4
Kubanga Moruddekaayi yali muntu mukulu mu lubiri lwa kabaka, n'ettutumu lye nga libunye mu bitundu byonna eby'obwakabaka. Kubanga omusajja oyo Moruddekaayi, yeeyongeranga bweyongezi okuba n'obuyinza.
5
Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna nga babatema n'ebitala, ne babazikiriza okubamalawo. Ne bakola kye baagala ku abo abaabakyawa.
6
Ne mu Susa, ekibuga ekikulu kyennyini, Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abantu ebikumi bitaano.
7
Ne batta Parisanidaata, ne Dalifoni, ne Asipata,
8
ne Porata, ne Adaliya, ne Aridaata,
9
ne Paramasita, ne Arisaayi, ne Aridaayi, ne Vayizaata,
10
abatabani ekkumi aba Hamani, mutabani wa Hammedata era omulabe w'Abayudaaya. Naye ne batanyaga kintu na kimu.
11
Awo ne bategeeza kabaka omuwendo gw'abantu abattibwa mu kibuga ekikulu Susa ku lunaku olwo lwennyini.
12
Kabaka n'agamba Nnaabagereka Esiteeri nti: “Mu kibuga ekikulu Susa, Abayudaaya basse ne bazikiriza abantu ebikumi bitaano, ne batabani ba Hamani ekkumi. Kale abantu bameka be basse mu matwale ga kabaka gonna! Kati kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Oba, kiki era ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa.”
13
Esiteeri n'addamu nti: “Bw'osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza Abayudaaya abali mu Susa, enkya baddemu okukola ekyo, kye bakkiriziddwa okukola olwaleero, n'emirambo gya batabani ba Hamani ekkumi, giwanikibwe ku kalabba.”
14
Kabaka n'alagira bakole bwe batyo, era ekirangiriro ne kiweebwa mu Susa, emirambo egya batabani ba Hamani ekkumi, ne bagiwanika.
15
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olwa Adaari, Abayudaaya abaali mu Susa ne baddamu okukuŋŋaana, ne batta abantu ebikumi bisatu mu Susa. Naye ne batanyaga kintu na kimu.
16
Awo Abayudaaya abalala abaali mu bitundu by'obwakabaka ne bakuŋŋaana, ne bataasa obulamu bwabwe ne beewonya abalabe baabwe. Mu abo abaabakyawa, ne battamu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano. Naye ne batanyaga kintu na kimu.
17
Kino kyabaawo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogwa Adaari. Enkeera, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, ne bawummula ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'okusanyuka.
18
Naye Abayudaaya abaali mu Susa, ne bakuŋŋaana ku lunaku olw'ekkumi n'essatu, ne ku lw'ekkumi n'ennya. Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'okusanyuka.
19
Abayudaaya ab'omu byalo, abaabeeranga mu bibuga ebitaliiko bigo, kyebaava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi gwa Adaari olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga, era olw'okuwummula n'okuweerezaganirako ebirabo.
20
Awo Moruddekaayi n'awandiika ebyo byonna ebyabaawo. Era Abayudaaya bonna abaali okumpi n'ewala mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero, n'abawandiikira ebbaluwa,
21
ng'abalagira okukuzanga ennaku: olw'ekkumi n'ennya n'olw'ekkumi n'ettaano eza Adaari, buli mwaka.
22
Ezo ze nnaku, Abayudaaya kwe beewonyeza abalabe baabwe. Ogwo gwe mwezi ogwafuuka ogw'essanyu mu kifo ky'obuyinike, era ogw'okuwummula mu kifo ky'okukungubaga. Baalagirwa okufuula ennaku ezo ez'okuliirako embaga, n'ez'okusanyukirako, n'ez'okuweerezaganirangako ebirungi, n'okugabirangako abaavu ebirabo.
23
Abayudaaya ne bakkiriza okukolanga ekyo kye baali batandise, era nga Moruddekaayi bwe yabawandiikira.
24
Kubanga Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi era omulabe w'Abayudaaya bonna, yali abakoledde olukwe okubazikiriza, era yali akubisizza akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okubamalawo n'okubazikiriza.
25
Naye Esiteeri bwe yagenda eri kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa ng'alagira nti olukwe olwo nnamuzisa, Hamani lwe yali akoledde Abayudaaya, lumwekyusize, era ye ne batabani be bawanikibwe ku kalabba.
26
Ennaku ezo kyebaava baziyita Purimu olw'erinnya Puri, akalulu. Kale olw'ebigambo ebyali mu bbaluwa eyo, n'olw'ebyo bye baalaba ebifa ku nsonga eno, n'olw'ebyo ebyabatuukako,
27
Abayudaaya kyebaava balifuula etteeka ku bo bennyini, ne ku zzadde lyabwe, ne ku buli alifuuka Omuyudaaya, nti ennaku ezo zombi zikuzibwenga buli mwaka awatali kwosa nga bwe kyawandiikibwa, era ng'ebiseera byazo bwe byategekebwa.
28
Era baasalawo nti ennaku ezo zijjukirwenga era zikuzibwenga mu buli mulembe, ne mu buli maka ne mu buli kitundu ne mu buli kibuga, era ennaku ezo eza Purimu ziremenga kugyibwawo mu Buyudaaya, wadde okwerabirwa bazzukulu baabwe.
29
Awo Nnaabagereka Esiteeri muwala wa Abihayili, ng'ali wamu ne Moruddekaayi Omuyudaaya, n'awandiika ebbaluwa ng'akozesa obuyinza bwe bwonna, okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eyogera ku Purimu.
30
Ebbaluwa n'agiweereza Abayudaaya bonna mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu eby'obwakabaka bwa Ahaswero, ng'ebaagaliza emirembe, era ng'ebakubiriza okuba abaamazima.
31
Yabawandiikirwa okukakasa ennaku ezo eza Purimu, mu biseera byazo ebyateekebwawo, nga Moruddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Esiteeri bwe baabalagira, era nga bo be nnyini Abayudaaya bwe baali beeteereddewo ebiragiro eby'okusiiba, n'ebiseera eby'okukungubaga.
32
Awo ekiragiro kya Esiteeri ne kikakasa amateeka ga Purimu, era ne kiwandiikibwa mu kitabo.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10