bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 3
Esther 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Ahaswero n'awa Hamani obwakatikkiro. Hamani yali mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi.
2
Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka, ne bavuunamiranga Hamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Kyokka Moruddekaayi n'atamuvuunamira, era n'atamuwa kitiibwa.
3
Awo abaweereza ba kabaka ne babuuza Moruddekaayi nti: “Lwaki ojeemera ekiragiro kya kabaka?”
4
Awo olwatuuka, bwe baamala okumugambanga buli lunaku, n'agaana okubawulira, ne babuulira Hamani, okulaba oba nga anaagumiikiriza empisa za Moruddekaayi, kubanga Moruddekaayi yali ababuulidde nti Muyudaaya.
5
Hamani bwe yalaba nga Moruddekaayi teyamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, n'ajjula obusungu.
6
Era bwe yakitegeera nti Moruddekaayi Muyudaaya, n'amalirira obutabonereza Moruddekaayi yekka, wabula n'okuzikiriza abantu ba Moruddekaayi, Abayudaaya bonna, mu bwakabaka bwa Ahaswero bwonna.
7
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, mu mwezi ogusooka, gwe mwezi ogwa Nisani, Hamani n'alagira okukubisa akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okulaba olunaku n'omwezi, okuzikiririzaako Abayudaaya bonna mu lunaku lumu. Olunaku olwasalibwawo lwali olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Adaari.
8
Awo Hamani n'agamba Kabaka Ahaswero nti: “Waliwo eggwanga ly'abantu erimu erisaasaanye ne libuna mu bantu, mu bitundu byonna eby'obwakabaka bwo. Amateeka gaabwe, maawufu ku g'abantu abalala bonna, era tebakwata mateeka go, ayi Ssaabasajja. N'olwekyo tekiyamba kabaka okubagumiikiriza.
9
Oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, yisa etteeka eriragira bazikirizibwe. Kino bw'onookikola, nja kuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka talanta omutwalo gumu eza ffeeza, nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.”
10
Awo kabaka n'anaanula ku ngalo ye, empeta eyakozesebwanga okussa akabonero ku birangiriro ebitongole, n'agiwa Hamani, omulabe w'Abayudaaya, mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi.
11
Kabaka n'amugamba nti: “Ensimbi zisigaze, n'abantu nkukkirizza obakoleko ky'oyagala.”
12
Awo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogusooka, abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa. Ne bawandiika ekirangiriro, omuli byonna Hamani bye yalagira abakungu ba kabaka, n'abaami abafuga buli kitundu, n'abakulu ba buli ggwanga. Buli kitundu ne kiwandiikirwa mu mpandiika yaakyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ekirangiriro kyawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Ahaswero, era ne kiteekebwako akabonero k'empeta ye.
13
Ababaka ne batwala ekirangiriro mu buli kitundu ky'obwakabaka. Ekirangiriro kyalimu okulagira okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abato n'abakulu, abakazi n'abaana, mu lunaku lumu olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, n'okunyaga ebintu byabwe.
14
Ebyakirimu byali bya kuba tteeka mu buli kitundu, birangirirwe eri abantu bonna beeteekereteekere olunaku olwo.
15
Kabaka n'alagira ababaka ne bagenda, ne babunyisa mangu etteeka mu kibuga ekikulu Susa. Awo kabaka ne Hamani ne batuula okunywa, kyokka ng'ekibuga kyonna ekikulu Susa, kiguddemu akasattiro.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10