bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 4
Esther 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
1
Moruddekaayi bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ebikutiya, ne yesiiga omutwe gwe gwonna evvu, n'ayita mu kibuga ng'akuba ebiwoobe eby'amaanyi,
2
okutuuka lwe yatuuka ku mulyango gw'olubiri, naye n'atayingira, kubanga omuntu ayambadde ebikutiya teyakkirizibwanga kuyingira mu lubiri.
3
Mu bitundu by'amatwale byonna, etteeka lya kabaka n'ekiragiro kye gye byatuuka, Abayudaaya ne beesaasaabaga nnyo, ne basiiba, ne bakaaba amaziga, ne bakuba ebiwoobe, era bangi ne bagalamira mu vvu nga bambadde ebikutiya.
4
Esiteeri ne yennyamira nnyo, abaweereza be abakazi n'abalaawe bwe baamubuulira Moruddekaayi bye yali akola. N'amuweereza engoye ez'okwambala mu kifo eky'ebikutiya, naye Moruddekaayi n'atazikkiriza.
5
Awo Esiteeri n'ayita omu ku balaawe ba kabaka eyali ateekeddwawo okumuweereza, eyayitibwanga Hataki, n'amutuma agende amanye byonna ebiriwo.
6
Hataki n'agenda eri Moruddekaayi mu makkati g'ekibuga ku mulyango gw'olubiri.
7
Moruddekaayi n'amutegeeza byonna ebyali bimutuuseeko, n'omuwendo gw'ensimbi Hamani gwe yali asuubizza okuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka, singa Abayudaaya bonna bazikirizibwa.
8
Moruddekaayi n'awa Hataki ebyali mu kirangiriro ekyali kifulumiziddwa mu Susa, ekiragira okusaanyaawo Abayudaaya. N'amugamba abitwalire Esiteeri era abimunnyonnyole, era amukuutire okugenda eri kabaka amwegayirire, era amusabe okukwatirwa abantu be Abayudaaya ekisa.
9
Awo Hataki n'agenda n'abuulira Esiteeri, Moruddekaayi by'agambye.
10
Ne Esiteeri n'awa Hataki obubaka obw'okuddiza Moruddekaayi nti:
11
“Singa wabaawo omuntu, k'abe musajja oba mukazi, ayingira munda mu luggya, n'alaba kabaka nga tayitiddwa, omuntu oyo ateekwa kuttibwa. Etteeka lino buli omu alimanyi, okuva ku baweereza ba kabaka, okutuukira ddala ku bantu bonna ab'omu bitundu kabaka by'afuga. Wabula singa kabaka agololera omuntu omuggo gwe ogwa zaabu, olwo omuntu oyo tattibwa. Naye mmaze ennaku amakumi asatu nga siyitibwanga kugenda eri kabaka.”
12
Awo ne babuulira Moruddekaayi Esiteeri by'agambye.
13
Moruddekaayi n'abagamba okuddamu Esiteeri nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna, ggwe onoowonawo kubanga oli mu lubiri lwa kabaka.
14
Kubanga bw'onoosirika mu kiseera nga kino, Abayudaaya bajja kufuna obuyambi obw'okubawonya nga buva awalala, naye ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, muzikirire. Ye ani amanyi oba nga wafuulibwa Nnaabagereka lwa biseera ebiri nga bino?”
15
Esiteeri n'addamu Moruddekaayi nti:
16
“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susa, musiibe ku lwange. Temulya wadde okubaako kye munywa, okumala ennaku ssatu. Nze n'abaweereza bange abakazi, tujja kukola ekintu kye kimu. Oluvannyuma nja kugenda eri kabaka newaakubadde nga tekikkirizibwa. Oba kufa, kale nnaafa!”
17
Moruddekaayi n'agenda n'akola nga Esiteeri bwe yamulagira.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10