bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Esther 7
Esther 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
1
Awo kabaka ne Hamani ne bagenda okulya ekijjulo ewa Nnaabagereka Esiteeri,
2
omulundi ogwokubiri. Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nate nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
3
Awo Nnaabagereka Esiteeri n'agamba nti: “Bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, okumpa kye nsaba, nkusaba n'obuwombeefu mpeebwe obulamu bwange, era nkwegayirira, abantu bange baleme okuttibwa.
4
Nze n'abantu bange tutundiddwa okuttibwa, okuzikirizibwa, n'okumalibwawo ddala. Singa kibadde kikoma ku kya kutundibwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise ne sikuteganya, newaakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa, kabaka bye yandifiiriddwa.”
5
Awo Kabaka Ahaswero n'abuuza Nnaabagereka Esiteeri nti: “Ani ayinza okwaŋŋanga okukola ekintu ng'ekyo? Era omuntu oyo ali ludda wa?”
6
Awo Esiteeri n'agamba nti: “Omulabe waffe, atuyigganya, ye musajja ono Hamani omubi.” Hamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne Nnaabagereka.
7
Kabaka n'asituka ng'ajjudde obusungu, n'ava we yali anywera omwenge, n'afuluma ebweru, n'agenda mu bulimiro bw'omu lubiri. Hamani bwe yalaba nga kabaka amaliridde okumubonereza, n'asigalawo okwegayirira Nnaabagereka Esiteeri okuwonya obulamu bwe.
8
Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu bulimiro bw'omu lubiri, n'ayingira mu kifo mwe yali anywera omwenge, n'asanga Hamani ng'agudde ku kitanda, Esiteeri kwe yali. Awo kabaka n'agamba nti: “Omusajja ono ayagala na kukwata Nnaabagereka wano mu maaso gange, mu lubiri lwange?” Olwayogera ekyo, ne babikka ku maaso ga Hamani.
9
Awo Haruboona omu ku balaawe abaweereza kabaka n'agamba nti: “Era Hamani yabadde akoze n'akalabba mu maka ge ak'okuwanikako Moruddekaayi, eyawonya obulamu bwa Ssaabasajja. Obugulumivu bw'akalabba ako, bwa mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu.” Kabaka n'alagira nti: “Mumuwanike okwo.”
10
Awo Hamani n'awanikibwa ku kalabba, ke yali akoledde Moruddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10