bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 1
Amos 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Amosi, omu ku basumba b'e Tekowa, bye yalaba ku Yisirayeli mu mirembe gya Wuzziya, kabaka wa Yuda n'egya Yerobowamu, mutabani wa Yowasi, kabaka wa Yisirayeli, nga wasigadde emyaka ebiri musisi okuyita.
2
N'agamba nti: “Omukama awuluguma ng'ayima mu Siyoni, abwatuka ng'ayima mu Yeruzaalemu; amalundiro g'abalunzi gakungubaga, n'entikko za Karumeli ziwotose.”
3
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Damasiko, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga bawuula Gileyaadi n'empuuzo ez'ebyuma.
4
Nzija kusindika omuliro mu nnyumba ya Kazayeli, ogunaasenkenyeza ddala embiri za Beni-Adadi.
5
Nzija kumenya emiyingo gya Damasiko, nzikirize abatuuze b'omu Kiwonvu kya Aveni, n'oyo akutte ddamula e Beti-Edeni; abantu ba Aramu bajja kutwalibwa mu busibe e Kiri.” Omukama y'agamba.
6
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Gaza, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baasiba abantu bonna ne babatunda mu Edomu.
7
Nzija kusindika omuliro ku bbugwe wa Gaza ogunaasenkenyeza ddala embiri zaayo.
8
Nzija kusaanyaawo abatuuze b'omu Asudodi, n'oyo akutte ddamula e Asukeloni. Omukono gwange nzija kugukyusiza ku Ekuroni; N'abasigaddewo mu Bafilisitiini balizikirira.” Omukama y'agamba.
9
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Tiiro, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baddira ebibinja by'abasibe byonna ne babitunda mu Edomu, ne batajjukira mukago gwa bwaluganda.
10
Nzija kusindika omuliro ku bbugwe wa Tiiro ogunaasenkenyeza ddala embiri zaakyo.”
11
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Edomu, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga yawondera muganda we n'ekitala, ekisa yakissa ebbali, obusungu bwe ne bwongera okutumbuka, obuswandi bwe ne butaamuuka.
12
Nzija kusindika omuliro mu Temani, ogunaasenkenyeza ddala embiri za Bozura.”
13
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egy'Abammoni, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abaali embuto, basobole bwe batyo okugaziya ensalo zaabwe.
14
Nzija kuteekera omuliro bbugwe wa Rabba ogunaasenkenyeza ddala embiri zaakyo, eno enduulu nga zitakira ku lunaku olw'olutalo, ne mu muyaga omungi ku lunaku olwa kikuŋŋunta;
15
Kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye wamu n'abakungu be.” Omukama y'agamba.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9