bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 8
Amos 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
1
Kino Omukama Katonda kye yandaga: Yandaga ekibbo ekijjudde ebibala eby'omu kyeya;
2
n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ekijjudde ebibala eby'ekyeya.” Omukama Katonda n'aŋŋamba nti: “Akadde katuuse olw'abantu bange Yisirayeli, sijja kwongera nate kubaleka bulesi.”
3
Omukama Katonda agamba nti: “Ennyimba z'omu Kiggwa ku olwo zirifuuka biwoobe; emirambo giriba mingi nga gigaŋŋalamye wonna. Sirika!”
4
Muwulire kino mmwe abalinnyirira abaavu, mmwe abasaanyaawo abanaku mu nsi,
5
nga mugamba nti: “Omwezi gunaggwaako ddi tutunde obuwunga bwaffe, Sabbaato eyita ddi tutwale eŋŋano yaffe mu katale, tukendeeze ku efa, ne sekeli tugyongereko, tuseere nga tweyambisa amayinja amakyamu,
6
tugule abankuseere ne zaabu, abanaku tubagule n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisusunku by'eŋŋano?”
7
Omukama alayidde okwekuza kwa Yakobo: “Emirembe gyonna siryerabira byonna bye baakola.”
8
Ensi terikaankana olwa kino, ne buli yenna agisulamu taliwooba? Ensi erituumbiira nga Kiyira; eribimba n'ekka ng'omugga gw'e Misiri.
9
“Ku olwo,” Omukama Katonda y'agamba, “ndigira enjuba n'egwa mu ttuntu, n'ensi ndigiteeka mu nzikiza emisana ttuku.
10
Embaga zammwe enkulu ndizifuula za kukaaba, n'ennyimba zammwe zonna ndizifuula za kukungubaga; buli omu mu mmwe ndimwambaza ekikutiya, era ndimumwa enviiri. Ndirufuula ng'olunaku olw'okukungubagira omutabani eyazaalibwa omu, luliggwa ng'olunaku olw'ennyiike.
11
“Ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaasindika enjala mu ggwanga lyonna; kyokka si njala ey'emmere oba ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo ky'Omukama.
12
Abantu balizuŋŋana okuva ku nnyanja emu okutuuka ku ndala, okuva emambuka okutuusa ebuvanjuba, nga banoonya ekigambo ky'Omukama, kyokka tebalikizuula.
13
“Ku olwo abawala abalungi n'abalenzi ab'amaanyi baliyenjebuka olw'ennyonta.
14
Abo bonna abalayira omusango gwa Samariya, ne bagamba nti: ‘Mazima lubaale wo nga mulamu, ggwe Daani!’ Oba nti: ‘Ndayidde ekkubo ly'e Beeriseba!’ Baligwa, tebaliddamu kusituka mulundi mulala.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9