bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 6
Amos 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
1
Zibasanze mmwe abeegandalidde mu Siyoni! Nammwe abeetuulidde entende ku lusozi lwa Samariya; abeebitiibwa mu ggwanga lino erisooka mu malala, ennyumba ya Yisirayeli gy'ejja.
2
Mujje e Kalune mulabe; muveeyo mulage e Kamati ekikulu, mulyoke muserengete e Gati eky'Abafilisitiini Bali bulungi okusinga obwakabaka buno? Yadde ensi yaabwe ngazi okusinga eyammwe?
3
Bwe mugenda nga mwongezaayo olunaku olw'akabi, mwanguyaako nnamulondo y'obukambwe.
4
Mwebaka ku bitanda eby'amasanga, ne mwegololera ku buliri bwammwe; mulya obuliga bwe mulondobye mu ggana, n'obuyana okuva mu kisibo.
5
Muyoogaanira ku ddoboozi ery'entongooli, ne muyiiyayiiya ebivuga nga Dawudi.
6
Munywa empaawo n'empaawo z'omwenge, ne mwesiiga omuzigo ogusingira ddala obulungi, naye mmwe tekibaluma Yozefu okuzikirizibwa.
7
Olwekyo nno mujja kubeera mu banaasooka okuwaŋŋangusibwa; okucakala kw'abeebaka ne beegolola kujja kukoma.
8
Omukama Katonda yeerayiridde; agamba Omukama Katonda w'Amagye nti: “Nkyawa amalala ga Yakobo, neenyinyala embiri ze; ekibuga nzija kukiwaayo na byonna ebikirimu.”
9
Abantu ekkumi bwe balisigala mu nnyumba emu, nabo balifa.
10
Ow'oluganda alijja okwokya emirambo, aggyewo amagumba mu nnyumba, bw'alibuuza yenna aliba akyali mu nnyumba eyo ebuziizi nti: “Waliyo abalala?” alimuddamu nti: “Teriiyo.” Olwo ono alimugamba nti: “Sirika! Erinnya ly'Omukama tetuteekwa kulyatula.”
11
Kubanga Omukama awadde ekiragiro: “Ennyumba ennene egenda kukoonakoonebwa esigale mafunfugu, n'akayumba akatono kalisigala kifulukwa.
12
Embalaasi ziddukira mu njazi? Ennyanja bagirimisaamu nte? Naye mmwe lwaki nno obutuufu mubufudde obutwa, n'ekibala ky'obutuukirivu ne mukifuula omususa?
13
Mmwe abasanyuka olwa Lo-Dabari, abagamba nti: ‘Tetwawamba Karunayimu n'amaanyi gaffe?’ ”
14
Anti Omukama Katonda w'Amagye agamba nti: “Nnyumba ya Yisirayeli, nzija kukusiikulira eggwanga, likunyigirize okuviira ddala e Lebo-Kamati okutuusa ku Kiwonvu Araba.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9