bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 9
Amos 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
1
Nalaba Omukama ng'ayimiridde kumpi n'omwaliiro, n'aŋŋamba nti: “Kuba ku mitwe gy'empagi emyango ginyeenye, ogyasize ku mitwe gyabwe bonna, buli anaaba asigaddewo mu bo nzija kumutta n'ekitala; mu bo tewaabe anadduka; mu bo temuube anaawonawo.
2
Ne bwe balisima ne bakka emagombe, omukono gwange gulibaggyayo; ne bwe balyambuka mu ggulu, nayo ndibawanulayo;
3
ne bwe balyekukuma ku ntikko ya Karumeli, ndibanoonyaayo ne mbakwatirayo; ne bwe balinneekweka ku ntobo y'ennyanja, ndiragira ssessota n'ababojjerayo.
4
Ne bwe baliwaŋŋangusibwa abalabe baabwe, ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimbako amaaso gange lwa bubi, si lwa bulungi.”
5
Omukama Katonda w'Amagye, akwata ku nsi n'esaanuuka, bonna abasulamu ne bakuba ebiwoobe, ensi yonna n'etumbiira nga Kiyira, ate n'ekka nga Kiyira w'e Misiri,
6
oyo azimba olubiri lwe eyo mu ggulu, emisingi gyalwo n'agisimba ku nsi, ayitayo amazzi g'ennyanja n'agayiwa ku lukalu, Omukama lye linnya lye.
7
“Abayisirayeli, ku nze temuli ng'Abakuusi?” Omukama y'agamba, “Si nze naggya Yisirayeli mu nsi y'e Misiri, n'Abafilisitiini ne mbaggya e Kafutori, n'Abasiriya ne mbaggya e Kiri?
8
Kati amaaso g'Omukama Katonda gali ku bwakabaka obwonoonyi; nzija kubumalawo ku nsi, naye sijja kusaanyizaawo ddala nnyumba ya Yakobo.” Omukama y'agamba.
9
“Nzija kulagira ennyumba ya Yisirayeli ngikunkumule mu mawanga gonna, ng'eŋŋano bw'ewewerwa mu lugali; tewaliba kayinja kagwa ku ttaka.
10
Aboonoonyi bonna mu bantu bange balittibwa n'ekitala, abo bonna abagamba nti: ‘Akacwano tekalitusemberera yadde okututuukirira.’ ”
11
“Ku olwo ndiyimusa ensiisira ya Dawudi eyagwa, ndiziba awaabomolwa, era ndiddaabiriza ebifulukwa byayo; ndigizimba n'eddawo nga bwe yali edda,
12
basobole okutwala abasigaddewo mu Edomu n'amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange.” Omukama y'agamba akola kino.
13
“Ennaku zituuse,” Omukama y'agamba, “akabala asangibwe akesa, n'asiga asangibwe omusogozi w'emizabbibu. Ensozi zijja kukulukuta omubisi gw'emizabbibu, n'obusozi bwonna butonnyolokoke evviini.
14
Ndikomyawo abasibe b'abantu bange Yisirayeli, balizimba buto ebibuga byabwe ebyayonoonebwa, era balibibeeramu; balisimba emizabbibu ne baginywako omwenge, balirima ennimiro ne balya ebibala byazo.
15
Nzija kubasimba ku ttaka lyabwe; tebaliddayo kusimbulibwa mu nsi yaabwe gye nabawa.” Omukama Katonda wo y'agamba.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9