bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 3
Amos 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
1
Ayi bantu ba Yisirayeli, muwulire Omukama ky'abavunaana, ne ky'avunaana ekika kyonna kye naggya mu Misiri.
2
“Mu bika byonna ebiri ku nsi, mmwe mwekka mmwe namanya, n'olw'ekyo mwenna nzija kubabonereza olw'ebibi byammwe.”
3
Ababiri basobola okugatta ekkubo wabula nga bamaze kutegeeragana?
4
Empologoma ewulugumira mu kisaka wabula ng'erinawo ekyokulya? Omwana gw'empologoma guvuumira mu nfo yaagwo nga teguliiko kye gukutte?
5
Ekinyonyi kiyinza okugwa ku ttaka mu kitimba okuggyako nga waliwo akatego akakitegeddwa? Omutego gumasuka ne guva ku ttaka okuggyako nga gukwasizza?
6
Eŋŋombe efuuyirwa mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, wabula ng'Omukama y'akaleese?
7
Mazima ddala, Omukama Katonda tabaako ky'akola ng'ekyama kye tasoose kukibikkulira baweereza be abalanzi.
8
Empologoma ewulugumye, ani ataajugumire? Omukama Katonda ayogedde, ani ataalange?
9
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi ne mu mbiri z'omu nsi y'e Misiri nti: “Mukuŋŋaanire mu nsozi za Samariya, mulabe obutabanguko enkumu obukirimu, n'okunyigirizibwa kw'abakirimu.”
10
“Tebamanyi na kukola kiruŋŋamu,” Omukama bw'agamba, “mu mbiri zaabwe batuumamu bukambwe na bunyazi.”
11
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Omulabe ajja kuzingiza ensi, ebigo byo ajja kubisuula wansi, n'embiri zo zijja kunyagibwa.”
12
Omukama kino ky'agamba: “Omusumba nga bw'awonya mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba akasammambiro k'okutu, bwe batyo n'Abayisirayeli bwe baliwona, abasula mu Samariya ku lubuubuuto lw'ekitanda, ne mu Damasiko ku kiriri kyabwe.
13
“Muwulire, mulumirize ennyumba ya Yakobo,” Omukama Katonda w'Amagye y'agamba.
14
“Ku lunaku lwe ndibonereza Yisirayeli olw'emisango gye, ndibonereza n'emyaliiro gya Beteli; amayembe g'emyaliiro galitemebwako ne gagwa ku ttaka.
15
Ndimenyawo ennyumba y'obudde bw'empewo n'ennyumba ey'ekyeya; ennyumba ez'amasanga zirizikirizibwa, embiri ennene zirisaanyizibwawo.” Omukama y'agamba.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9