bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 7
Amos 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
1
Kino Omukama kye yandaga: Yali ategeka ebikuukuulu by'enzige birumbe awo ng'eby'amasiga agookubiri bisooka okumera, awo nga n'essubi lya kabaka lyakasalibwa.
2
Enzige nga zimaze okusenkenya omuddo ku nsi, ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, nsaasira! Yakobo anaasigalawo, oyo omutono bw'atyo?”
3
Omukama ne yeddamu; Omukama n'agamba nti: “Tekibeewo!”
4
Kino Omukama Katonda kye yandaga: Omukama yali ayita omuliro agweyambise okulamula; gwakaliza eddubi eggwanvu ne gutandika n'okulya olukalu.
5
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, koma awo; Yakobo anaasigalawo, oyo omutene bw'atyo?”
6
Omukama ne yeddamu; Omukama Katonda n'agamba nti: “Na kino tekiibeewo.”
7
Kino Omukama Katonda kye yandaga: Omukama yali ayimiridde kumpi n'ekisenge ekyazimbirwa ku bbirigi, yali akutte bbirigi mu ngalo.
8
Omukama n'ambuuza nti: “Amosi, kiki ky'olaba?” Ne mmwanukula nti: “Bbirigi.” Awo Omukama n'aŋŋamba nti: “Laba, nzija kussa bbirigi mu bantu bange wakati; sijja kwongera nate kubaleka bulesi.
9
Ebifo bya Yizaake ebigulumivu bijja kuzikirizibwa; ebifo ebitukuvu ebya Yisirayeli birifuuka matongo; ennyumba ya Yerobowamu nzija kugisitukiramu n'ekitala.”
10
Awo Amaziya, kabona w'e Beteli n'atuma ewa Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli, n'amugamba nti: “Amosi akujeemedde wano mu nnyumba ya Yisirayeli wakati; ensi tekyasobola kugumiikiriza bigambo bye byonna.
11
Anti bino Amosi by'agamba: “ ‘Yerobowamu ajja kufa kitala, ne Yisirayeli ajja kuwaŋŋangusibwa ewala okuva mu nsi yaboobwe.’ ”
12
Amaziya n'agamba Amosi nti: “Genda, ggwe omulabi, ddukira mu nsi ya Yuda, eyo gy'oba olya emmere era gy'oba okolera obulanzi;
13
naye toddamu kulangira mu Beteli, kubanga kye kitukuvu kya kabaka era kye kiggwa ky'eggwanga.”
14
Awo Amosi n'ayanukula n'agamba nti: “Nze siri mulanzi, yadde omu ku baana b'abalanzi, wabula ndi mulunzi, ndabirira miti gya mikunyu.
15
Naye Omukama ye yanzigya ku gw'okulunda, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Yisirayeli.’
16
Kale nno wulira ekigambo ky'Omukama: “Ggwe ogamba nti: ‘Tobaako ky'olanga ku nnyumba ya Yisirayeli, era tobaako ky'osiinya ku nnyumba ya Yizaake.’ ”
17
N'olw'ekyo nno Omukama kino ky'agamba: “Mukazi wo ajja kufuuka malaaya mu kibuga, batabani bo ne bawala bo bajja kufa ekitala; ensi yo ejja kukubibwa olukoba olupima egabanyizibwemu, ate naawe olifiira mu nsi eteri nnongoofu, ne Yisirayeli ajja kuwaŋŋangusibwa ewala okuva mu nsi yaaboobwe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9