bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 4
Amos 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
1
Muwulire ekigambo kino, mmwe ente z'e Basani, bakazi mmwe, mu nsozi za Samariya, abanyigiriza abankuseere ne mubonyaabonya abanaku; abagamba babbammwe nti: “Mutuleetere tunywe.”
2
Omukama Katonda alayidde obutuukirivu bwe nti: “Ennaku zijja kubajjira lwe muliwalaawalirwa ku malobo, n'abasembayo mu mmwe balitwalibwa ku malobo agavuba;
3
buli omu alifuluma butereevu, ng'ayita mu bituli mu bisenge, ne mukasukibwa mu Arumoni.” Omukama y'agamba.
4
“Mugende e Beteli, musobye; mugende e Gilugali ebisobyo byammwe mubyongere obungi; muweereze ebitambiro byammwe buli lukya; muleete ebyekkumi byammwe buli nnaku ssatu.
5
Mutambire n'ekizimbulukusa ekitambiro eky'okwebaza; mulaalaase wonna ebitambiro byammwe ebyeyagalire; mulangirire, anti ekyo kye mwagala, bantu ba Yisirayeli!” Omukama Katonda y'agamba.
6
“Nabawa amannyo amayonjo mu bibuga byammwe byonna, n'okubulwa omugaati mu byalo byammwe byonna, naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
7
“Era nabamma n'enkuba, nga wakyasigadde emyezi esatu okukungula, ne ngitonnyesa ku kibuga kimu, ne sigitonnyesa ku kirala; mu nnimiro emu enkuba n'etonnya, mu ndala n'etetonnya.
8
Ebibuga bibiri oba bisatu byabundabundanga okulaga mu kibuga ekimu banyweyo ku tuzzi, naye tebakkutanga; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
9
“Nabakuba ne nnabbambula n'okugengewala kw'ebimera; emirundi mingi nakuba ennimiro zammwe n'emizabbibu gyammwe, obwacaaka ne bulya emikunyu gyammwe n'oliva zammwe; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
10
“Nabasindikira ebibonerezo ng'eby'omu Misiri, ne nzita abavubuka bammwe n'ekitala, embalaasi zammwe ne zinyagibwa, najjuza ekivundu mu nsiisira zammwe ne kisaanikira ennyindo zammwe; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
11
“Nabazikiriza nga Katonda bwe yazikiriza Sodoma ne Gomorra, mmwe ne mubeera ng'ekitawuliro ekiggyiddwa ku luyiira; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
12
“Olwekyo nange kino kye nzija okukukola, ggwe Yisirayeli; ate kubanga kino nzija kukikukola, Yisirayeli, weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo.”
13
Eyakola ensozi, n'atonda empewo, abikkulira omuntu ebirowoozo bye, oyo afuula mmambya ekizikiza, atambula ku ntikko z'ensi, Omukama Katonda w'Amagye lye linnya lye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9