bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Amos 5
Amos 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
1
Muwulire ekigambo kino kye ntanudde ku mmwe, n'oluyimba olw'okukungubaga lwe ntanudde, ggwe nnyumba ya Yisirayeli:
2
Agudde, taddeyo kusituka omubeererevu wa Yisirayeli; ayabuliddwa mu nsi ye, tewali anaamuyimusa.
3
Kino ky'agamba Omukama Katonda: 2 “Ekibuga ekyafulumyanga abantu olukumi mulisigalamu kikumi; ekyafulumyanga ekikumi mulisigalamu kkumi ku lw'ennyumba ya Yisirayeli.”
4
Omukama kino ky'agamba ennyumba ya Yisirayeli: “Munnoonye, olwo munaalama.
5
Muleke kunoonya Beteli; muleke kugenda Gilugali, wadde okuseyeggera olw'e Beeriseba, kubanga Gilugali kya kutwalibwa mu busibe, ne Beteli alifuuka omutali nsa.
6
Munoonye Omukama, olwo munaalama; oba si ekyo nzija kuyita mu nnyumba ya Yozefu ng'omuliro, gulisenkenya, era ku Beteli teriba azikiriza.
7
Mmwe, obulungi ababufudde omususa, obutuukirivu ne babusuula mu ttaka.”
8
Eyakola Emmunyeenye Omusanvu ne Oriyoni, enzikiza ekutte agifuula amakya, omusana n'aguddugaza ne gufuuka ekiro, ayita amazzi g'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu, Omukama lye linnya lye.
9
Aleetera ekigo okuzikirira, n'ekibuga ekibugirize n'akireka matongo
10
Beenyinyala oyo ayigiriza obwenkanya mu mbuga, ne banyooma ayogera amazima.
11
Kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumubinika omusolo gw'eŋŋano, bwe muneezimbira ennyumba n'amayinja amabajje, temujja kuzisulamu; bwe nunaasimba emizabbibu egyegombebwa, temujja kuginywako vviini.
12
Kubanga mmanyi emisango gyammwe bwe gyenkana obungi, n'ebibi byammwe bwe byenkana obunene. Mmwe, abanyigiriza omutuukirivu, ne mulya enguzi, abaavu ne mubasindiikiriza eri ku miryango gy'ekibuga.
13
Omwegendereza mu budde ng'obwo asirika, kubanga obudde bubi.
14
Munoonye ekirungi, sso si ekibi, mulyoke mubeere balamu, n'Omukama Katonda w'Amagye lw'anaabeera nammwe, nga bwe mugambye nti bw'ali.
15
Mukyawe ekibi, mwagale ekirungi; mulamule mu bwenkanya ku mulyango, oboolyawo Omukama Katonda w'Amagye, anaddiramu abasigaddewo mu Yozefu.
16
N'olw'ekyo kino ky'agamba Omukama Katonda w'Amagye: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo wonna, nga bakaaba mu mpya zonna nti: ‘Woowe! Woowe!’ Baliyita abalimi bajje bakube ebiwoobe, n'abakungubazi bajje balire.
17
Mu nnimiro z'emizabbibu zonna mulibaamu ebiwoobe, kubanga ŋŋenda kukuyitamu wakati.” Omukama y'agamba.
18
Zibasanze mmwe abayaayaanira Olunaku lw'Omukama! Olunaku lw'Omukama lulibagasa ki? Luliba lwa nzikiza, si lwa kitangaala.
19
Luliba ng'omuntu adduka empologoma ate n'asanga eddubu, ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge, omusota ne gumubojja.
20
Olunaku lw'Omukama teruliba lunaku lwa kizikiza sso si lwa kitangaala? Teruliba lwa kazigizigi awatali na kitangaala?
21
“Nkyawa embaga zammwe enkulu, era nzinyooma; sisanyukira nkuŋŋaana zammwe ez'ekitiibwa.
22
Ne bwe munampeereza ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga, sijja kubikkiriza, n'ebitambiro byammwe eby'okussa ekimu eby'ensolo ensavuwaze, sijja kubitunuulira.
23
Mutwale eri omujogoolikano gw'ennyimba zammwe. Sijja kuwuliriza nnyimba za ntongooli zammwe.
24
Naye muleke obulungi bukulukute ng'amazzi, obutuufu, ng'engezi etekalira.
25
Si mwampeereza ebitambiro n'ebitone, emyaka amakumi ana mu ddungu, nnyumba ya Yisirayeli?
26
Mukongozze Sakkuti kabaka wammwe, ne Kayiwani lubaale wammwe ow'emmunyeenye, ebifaananyi byammwe bye mwekolera mmwe mwennyini.
27
Nzija kubawaŋŋangusa n'okuyisa Damasiko.” Omukama y'agamba, erinnya lye Katonda w'Amagye.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9