bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 1
Ezra 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
1
Mu mwaka omubereberye ogw'obufuzi bwa Kuuro Kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye, kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza kabaka wa Perusiya, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa bwe kiti:
2
“Kuuro Kabaka wa Perusiya agamba nti: Mukama Katonda w'eggulu, ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi, era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Abasiriya ekiri mu Buyudaaya.
3
Katonda abeere nammwe mwenna abantu be. Mujja kugenda e Abasiriya ekiri mu Buyudaaya, muddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Katonda abeera mu Abasiriya.
4
Era buli Muyudaaya ali mu buwaŋŋanguse ng'ayagala okuyambibwa addeyo, abantu b'abeeramu bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala ebikalu, n'ebisolo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo, eby'okuwaayo mu Ssinzizo lya Katonda eriri mu Abasiriya.”
5
Awo abakulu b'ennyumba mu bika ekya Yuda n'ekya Benyamiini, ne bakabona, n'Abaleevi, na buli omu Katonda gwe yakubiriza, ne basituka okugenda e Abasiriya, baddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama.
6
Baliraanwa baabwe ne babayamba nga babawa ebintu ebya ffeeza, ne zaabu, n'ebintu ebirala, n'ebisolo, n'ebirabo eby'omuwendo ennyo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo eby'okuwaayo mu Ssinzizo.
7
Era Kabaka Kuuro n'abaddiza ebintu Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo lya Mukama e Abasiriya n'abiteeka mu ssabo lya balubaale be.
8
Kuuro Kabaka wa Perusiya n'abikwasa Mitiredati omuwanika, eyabibalira Sesubazzari omufuzi wa Buyudaaya.
9
Era byali bwe biti: essowaani za zaabu amakumi asatu, Essowaani za ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda,
10
ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogwokubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebibya ebirala lukumi.
11
Zonna awamu essowaani eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina. Ebintu ebyo byonna Sesubazzari yagenda nabyo, ye n'abawaŋŋanguse abalala nga bava e Babilooni okudda e Abasiriya.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10