bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 4
Ezra 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
1
Abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abaava mu buwaŋŋanguse bazimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo,
2
ne bagenda balabe Zerubabbeeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Ka tuzimbire wamu nammwe Essinzizo, kubanga Katonda gwe musinza naffe gwe tusinza, era tubadde tuwaayo ebitambiro gy'ali, okuva ku mirembe gya Esaruhaddoni, kabaka w'Assiriya, eyatuleeta okubeera wano.”
3
Zerubabbeeli ne Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tetwetaaga buyambi bwammwe okuzimbira Mukama Katonda waffe Essinzizo. Tujja kulyezimbira, nga kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yatulagira.”
4
Awo abantu abaali babeera mu nsi eyo, ne bagezaako okuterebula n'okutiisatiisa Abayudaaya, baleme okuzimba Essinzizo.
5
Ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba, mu kiseera kyonna Kuuro kye yamala nga ye kabaka wa Perusiya, n'okutuusa ku mirembe gya Kabaka Dariyo.
6
Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, abalabe abo ne bawandiika ebbaluwa nga baloopa abaali mu Buyudaaya ne mu Abasiriya.
7
Era ku mirembe gya Kabaka Arutazeruzeesi, Bisulamu, ne Mituredaate, ne Tabeeli, ne bannaabwe abalala, ne bawandiikira Kabaka Arutazeruzeesi ow'e Perusiya ebbaluwa. Ebbaluwa eyo yali ewandiikiddwa mu nnukuta ez'Ekyaramayika era mu lulimi Olwaramayika.
8
Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bawandiikira Kabaka Arutazeruzeesi ebbaluwa okuloopa ebifa mu Abasiriya, ng'esoma bw'eti:
9
“Evudde wa Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala abalamuzi, abafuzi, n'abakungu, n'Abaperusi n'abantu ab'Ereki, n'ab'e Babilooni n'ab'e Susa, eky'omu nsi ya Elamu,
10
wamu n'abantu abalala bonna, Oweekitiibwa era Ow'obuyinza Osunappali be yasengula mu maka gaabwe, n'abasenza mu bibuga by'e Samariya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w'omugga.”
11
Bino bye bigambo by'ebbaluwa eyo: “Ya Kabaka Arutazeruzeesi. Abaddu bo ab'emitala w'omugga bakulamusizza.
12
“Ayi Ssaabasajja, tukutegeeza nti Abayudaaya abajja wano nga bavudde eyo gy'oli, bazze mu Abasiriya, era kati bazimba ekibuga ekyo ekijeemu era ekyonoonyi. Batandise okuzimba ebisenge ebikyetoolodde era banaatera okubimaliriza.
13
Ayi Ssaabasajja, ekibuga ekyo, singa kiddamu okuzimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne babimaliriza, abantu abo bajja kulekera awo okuwa omusolo n'empooza n'obusuulu, era ekyo kijja kukendeeza enfuna yo.
14
Kale nga bwe tufuna obuyambi obuva mu lubiri, tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, ne tusirika busirisi. Kyetuvudde tukutumira tukubuulire,
15
onoonyereze mu biwandiiko bya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nga bulijjo ekibuga ekyo kibadde kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi ab'amasaza. Abantu baamu bulijjo bazibu nnyo okufuga, era ekyo kye kyakireetera n'okuzikirizibwa.
16
Ayi Ssaabasajja, tukukakasa nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne biggwa, oliba tokyasobola kufuga kitundu ky'emitala w'omugga.”
17
Kabaka n'abaddamu nti: “Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannammwe bonna ab'omu Samariya, n'abalala ab'emitala w'omugga, mbalamusizza.
18
“Ebbaluwa gye mwatuweereza, baginsomedde ne ngitegeera,
19
ne ndagira ne banoonyereza, era bazudde ng'ekibuga ekyo okuva edda n'edda kibadde kijeemera bakabaka, era n'okutuusa kati nga kijjudde obwediimo n'obujagalalo.
20
Era Abasiriya, kyafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga n'ebitundu byonna eby'emitala w'omugga, nga basoloozaamu omusolo, n'obusuulu, n'empooza.
21
N'olwekyo mulagire abantu abo, balekere awo okuzimba ekibuga ekyo, okutuusa lwe ndiwa ekiragiro ekirala.
22
Kino mukikole mangu, akabi kaleme kweyongera kufiiriza kabaka.”
23
Rehumu, ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala, bwe baawulira ebigambo by'ebbaluwa Kabaka Alutazeruzeesi gye yawandiika, ne bagenderawo e Abasiriya, ne bakaka Abayudaaya okuyimiriza omulimu ogwo.
24
Awo omulimu gw'okuzimba Essinzizo mu Abasiriya ne guyimirizibwa, okutuusa mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Dariyo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
Recommended Reading
Commentary
Ezra Commentaries
→
Devotional
Ezra Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→