bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 6
Ezra 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
1
Awo kabaka Dariyo n'alagira banoonye mu Babilooniya mu mawanika omuterekebwa ebiwandiiko ebitongole.
2
Ne basanga mu kibuga eky'e Ekubatana mu kitundu ky'e Mediya omuzingo gw'ekiwandiiko kino:
3
“Mu mwaka ogwasooka ogw'obufuzi bwa Kabaka Kuuro, kabaka Kuuro oyo yalagira nti Essinzizo eriri mu Abasiriya liddemu okuzimbibwa, okuba ekifo mwe baweerayo ebitambiro, era lizimbibwe ku musingi omugumu. Lijja kuba lya mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, n'obugazi mita amakumi abiri mu musanvu.
4
Obugazi bw'ebisenge bube bwa mbu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu lw'embaawo empya. Eggwanika ly'obwakabaka lye linaasasulira omulimu ogwo gwonna.
5
Era n'ebintu by'omu Ssinzizo ebya zaabu ne ffeeza Nebukadunezzari bye yaggya e Abasiriya mu Ssinzizo n'abireeta e Babilooni, bizzibweyo mu Ssinzizo e Abasiriya, biteekebwe buli kimu mu kifo we kyali.”
6
Awo Dariyo n'abaddamu nti: “Ya Tattenayi, omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bafuzi bannammwe abali mu kitundu ekyo, eky'emitala w'omugga. “Omulimu gw'okuzimba Essinzizo muguveeko.
7
Muleke omufuzi w'Abayudaaya n'abakulembeze baabwe be baba bazimba obuggya Essinzizo mu kifo kyalyo mwe lyali.
8
Era mbalagira bye munaakolera abakulu b'Abayudaaya nga baddamu okuzimba Essinzizo: abasajja abo basasulwenga mangu era mu bujjuvu, ku musolo ogukuŋŋaanyizibwa okuva emitala w'omugga, omulimu guleme kuyimirira.
9
Era mubawenga bye beetaaga: ente ennume ento, endiga ennume n'abaana b'endiga, biweebwengayo eri Katonda w'eggulu nga bye biweebwayo ebyokebwa. Mubawenga n'eŋŋaano, n'omunnyo, n'omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti, nga bakabona abali e Abasiriya, bwe banaabanga babyetaaga. Mubibawenga buli lunaku, awatali kwosa,
10
balyoke bawengayo eri Katonda w'eggulu ebitambiro by'asiima, bansabirenga nze kabaka n'Ab'ezzadde lyange.
11
Era ndagira nti: omuntu yenna anaakyusaako etteeka lino, baggye omuti mu nnyumba ye, bagusimbe awanikibweko, era ennyumba ye efuulibwe ekifo awasuulibwa obusa.
12
Katonda eyalonda Abasiriya okuba ekifo eky'okumusinzizangamu, aggyeko bakabaka bonna n'abantu bonna obuyinza, abalikyusaako ekiragiro kino ne bazikiriza Essinzizo eryo eriri e Abasiriya. Nze Dariyo nteese etteeka lino era kye liragira, kituukirizibwe mu bujjuvu.”
13
Awo Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala nga kabaka bwe yalagira.
14
Abakulembeze b'Abayudaaya ne bazimba Essinzizo, nga bayambibwako abalanzi Haggayi ne Zekariya mutabani wa Yiddo. Ne bamaliriza Essinzizo nga Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, era nga n'ekiragiro kya Kuuro ne Dariyo ne Arutazeruzeesi kabaka w'e Perusiya bwe kyali.
15
Essinzizo eryo lyaggwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adaari, mu mwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Kabaka Dariyo.
16
Awo Abayisirayeli: bakabona, n'Abaleevi n'abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse ne basanyuka nnyo nga batukuza Essinzizo.
17
Mu kutukuza Essinzizo ne batambira ente ennume kikumi, n'endiga ennume ebikumi bibiri, n'endiga ento ebikumi bina, ne batambira n'embuzi ennume kkumi na bbiri, embuzi emu ku lwa buli kika kya Yisirayeli, nga kye kiweebwayo olw'ebibi by'Abayisirayeli bonna.
18
Era ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga mu Ssinzizo mu Abasiriya, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo kya Musa.
19
Awo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye, abo bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
20
Olw'okuba bakabona n'Abaleevi beetukuliza wamu, bonna baali balongoofu. Bwe batyo Abaleevi ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ku lw'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne ku lwa baganda baabwe bakabona, ne ku lwabwe bennyini.
21
Awo Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse, ne baliira wamu n'abo bonna abaaleka empisa enkyamu ez'ab'amawanga ababeera mu nsi eyo, balyoke basinze Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
22
Awo ne bamala ennaku musanvu nga bakola n'essanyu Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Baali basanyufu, kubanga Mukama yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Assiriya, kabaka oyo n'abaagala, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba obuggya Essinzizo lya Katonda wa Yisirayeli.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10