bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 5
Ezra 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
1
Awo abalanzi Haggayi ne Zekariya, mutabani wa Yiddo, ne balanga mu linnya lya Katonda wa Yisirayeli, eri Abayudaaya abaali mu Buyudaaya ne Abasiriya.
2
Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa mutabani wa Yehozadaaki, ne basituka ne batandika okuzimba Essinzizo mu Abasiriya. Ne bayambibwako abalanzi ba Katonda.
3
Mu kiseera ekyo, Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi ne bannaabwe abalala, ne bajja e Abasiriya, ne bababuuza nti: “Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno n'okugimaliriza?”
4
Era ne bababuuza nti: “Abasajja abazimbisa ennyumba eno be baani?”
5
Kyokka Katonda w'Abayudaaya n'akuuma abakulu baabwe, olwo abakungu Abaperusiya ne batabayimiriza ka mulimu okutuusa nga bamaze okuwandiikira Kabaka Dariyo, era ng'abazzeemu mu buwandiike.
6
Eno y'ebbaluwa Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe abalala bwe baafuganga ekitundu ekiri emitala w'omugga, gye baaweereza Kabaka Dariyo:
7
“Ya kabaka Dariyo. Emirembe gibeere naawe.
8
Ayi Ssaabasajja tukutegeeza nti twagenda mu kitundu ky'e Buyudaaya mu Ssinzizo lya Katonda, ne tusanga nga balizimbisa amayinja amanene, nga bateeka n'embaawo mu bisenge. Omulimu gukolebwa n'amaanyi era gugenda mu maaso.
9
“Awo ne tubuuza abakulembeze b'abantu nti: ‘Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno, n'okugimaliriza?’
10
Era ne tubabuuza amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze abantu abakulira omulimu ogwo.
11
“Ne batuddamu nti: ‘Tuli baweereza ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba buggya Essinzizo eryazimbibwa era ne limalirizibwa kabaka wa Yisirayeli omukulu, emyaka mingi egiyise.
12
Kyokka bajjajjaffe bwe baanyiiza Katonda w'eggulu, n'abavaamu. Nebukadunezzari Omukaludaaya, kabaka w'e Babilooni, n'abawamba, n'abatwala mu Babilooniya, n'Essinzizo n'alizikiriza.
13
Awo mu mwaka ogwasooka ogw'obufuzi bwa Kuuro kabaka we Babilooni, Kuuro oyo n'ayisa ekiragiro bazimbe buggya Essinzizo.
14
Era n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo e Abasiriya n'abitwala mu ssabo e Babilooni, kabaka Kuuro yabiggyayo mu ssabo e Babilooni n'abikwasa Sesubazzari, gwe yalonda okuba omufuzi.
15
N'amugamba nti: “Twala ebintu bino obiteeke mu Ssinzizo e Abasiriya, era olabe ng'Essinzizo liddamu okuzimbibwa mu kifo we lyali.”
16
Awo Sesubazzari n'ajja, n'azimba omusingi gw'Essinzizo mu Abasiriya. Okuva olwo n'okutuusa kati terinnaggwa, likyazimbibwa.’
17
“N'olwekyo bw'oba ng'okisiima, ayi Ssaabasajja, lagira banoonye mu biwandiiko eby'obwakabaka e Babilooni, balabe oba nga Kabaka Kuuro yayisa ekiragiro ekikkiriza okuddamu okuzimba Essinzizo e Abasiriya. Era ayi Ssaabasajja tukusaba otutegeeze ky'oyagala ku nsonga eyo.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10