bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 9
Ezra 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
1
Ebyo bwe byaggwa, abakulembeze ne bajja gye ndi, ne baŋŋamba nti: “Abayisirayeli ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde ku bantu ba nsi ezitwetoolodde. Bakola eby'obugwagwa bye bimu ng'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abaamori, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abammoni bye bakola.
2
Bawasa abakazi ab'amawanga amalala, bwe batyo abantu ba Katonda abatukuvu ne boonooneka. Abaami n'abakungu, be basinze okwonooneka.”
3
Awo bwe nawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange olw'okunakuwala, ne nkuunyuula enviiri zange n'ekirevu kyange, ne ntuula, nga nsobeddwa.
4
Awo abo bonna abaatya olw'ebigambo Katonda wa Yisirayeli bye yayogera ku bibi by'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne bakuŋŋaanira we nali ntudde nga ntokooteredde okutuusa mu kiseera eky'okuwaayo ekiweebwayo eky'akawungeezi.
5
Awo mu kiseera eky'ekitambiro eky'akawungeezi ne ngolokoka, ne nva we nali nkungubagira nga nnyambadde ekyambalo kyange n'omunagiro gwange ebiyulifu, ne nfukamira, ne mpanika emikono gyange eri Mukama Katonda wange,
6
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi nnyingi okuyimusa amaaso gange gy'oli, ayi Katonda wange. Ebyonoono byaffe byetuumye ne bisukka emitwe gyaffe, n'emisango gyaffe gyetuumye okutuuka ku ggulu.
7
Okuva mu biseera bya bajjajjaffe n'okutuusa kati, tuzizza emisango minene. Era olw'ebibi byaffe ebyo, bakabaka baffe ne bakabona baffe, naffe, kyetuvudde tugwa mu mikono gya bakabaka b'amawanga amalala, era tubadde tuttibwa mu ntalo, ne tunyagibwa ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tuswala nnyo nga bwe tuli kati.
8
Kyokka mu nnaku entono zino, Mukama Katonda waffe atukwatiddwa ekisa, n'atutalizaawo ffe abamu, n'atuwa okuba abanywevu mu kifo kino ekitukuvu, Katonda waffe alyoke atuzzeemu amaanyi, era atuwe okuweeraweerako mu busibe bwaffe.
9
Tuli baddu, naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, wabula atusaasidde ne twagalibwa bakabaka b'e Perusiya, n'atuzzaamu ku maanyi ne tuzimba Essinzizo lya Katonda waffe, n'okuliddaabirizaamu ebyayonooneka, era n'atuteerawo ekisenge ekitutaasa mu Buyudaaya ne mu Abasiriya.
10
“Kale nno kaakano, ayi Katonda waffe, tetulina kya kwogera olw'ebyo byonna ebibaddewo. Tujeemedde ebiragiro byo
11
bye watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: ‘Ensi gye mugenda okuyingiramu efuuke yammwe, nnyonoonefu olw'eby'obugwagwa abantu baamu bye bakola, ebigijjuzizza obugwenyufu bwabwe enjuyi zonna.
12
N'olwekyo temuufumbizenga bawala bammwe mu batabani baabwe, era temuuwasizenga batabani bammwe bawala baabwe. Temuunoonyenga kuba mirembe nabo wadde okukulaakulana, mulyoke mubenga ba maanyi, era mulyenga ebirungi ebiri mu nsi eyo, mugirekere Ab'ezzadde lyammwe okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
13
Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, tumanyi nga ggwe Katonda waffe, watuwa ekibonerezo kitono okusinga kye twali tusaanidde olw'ebyonoono byaffe, n'otulekawo abawonyeewo abenkana bwe tuti.
14
Kale tuyinza tutya okuddamu okumenya ebiragiro byo ne tufumbiriganwa n'abantu abakola eby'obugwagwa? Singa tukikola, ojja kunyiiga otuzikirize, waleme kusigalawo n'omu awonawo.
15
Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oli mutuukirivu, kubanga tusigaddewo nga ffe batono abawonyeewo n'okutuusa kati. Tuutuno mu maaso go nga tuzzizza omusango olw'ebibi byaffe. Tetusaanidde kuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10