bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 3
Ezra 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
1
Mu mwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli bonna nga bamaze okutebenkera mu bibuga byabwe, ne bakuŋŋaanira mu Abasiriya nga bali bumu,
2
Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne bakabona banne, ne Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, wamu n'ab'eŋŋanda ze, ne bazimba alutaari ya Katonda wa Yisirayeli ey'okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
3
Ne basimba alutaari mu kifo kyayo newaakubadde nga baali batya abantu abali mu nsi eyo. Bwe batyo ne bagiweerangako eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa buli nkya n'akawungeezi.
4
Ne bakuza olunaku olw'okujjuukirirako ensiisira, nga bwe kyawandiikibwa. Buli lunaku ne bawangayo ebitambiro ebyokebwa ebiragirwa okuweebwayo ku lunaku olwo,
5
n'oluvannyuma ne bawangayo ebitambiro ebya bulijjo ebyokebwa, era n'ebyo ebiweebwayo ku Mbaga ey'Okuboneka kw'Omwezi, ne mu nkuŋŋaana zonna eza bulijjo, mwe baasinziriza Mukama, n'ebyo byonna buli muntu bye yawaayo eri Mukama nga yeeyagalidde.
6
Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'omusanvu, kwe baatandikira okuwaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, newaakubadde nga baali tebannatandika kuzimba musingi gwa Ssinzizo.
7
Ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi, era ne bawa ab'e Tiiro n'ab'e Sidoni emmere n'ebyokunywa, n'omuzigo, okuleeta emivule egy'e Lebanooni, nga bagiyisa ku nnyanja okugituusa e Yoppa, nga Kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yabakkiriza.
8
Awo mu mwezi ogwokubiri ogw'omwaka ogwokubiri nga batuuse mu kifo ky'Essinzizo mu Abasiriya, Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa mutabani wa Yehozadaaki, wamu ne baganda baabwe abalala, ne batandika omulimu. Bakabona n'Abaleevi, n'abo bonna abajja mu Abasiriya nga bavudde mu buwaŋŋanguse, ne babeegattako. Abaleevi abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne balondebwa okulabirira omulimu gw'okuzimba Essinzizo.
9
Awo Yeswa ne batabani be, n'ab'eŋŋanda ze, ne Kadumyeli ne batabani be, ne batabani ba Yuda, ne beegatta wamu okulabirira abakozi b'Essinzizo. Baayambibwako batabani ba Henadaadi, Abaleevi, ne batabani baabwe ne baganda baabwe.
10
Awo abazimbi bwe baatandika okuzimba omusingi gw'Essinzizo, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe, nga bafuuwa amakondeere, n'Abaleevi ab'omu baana b'Asafu nga bakuba ebitaasa okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yalagira.
11
Ne bayimba omuddiŋŋanwa nga batendereza era nga beebaza Mukama nga bagamba nti: “Mukama mulungi, n'okwagala kwe ku Yisirayeli kwa mirembe gyonna.” Abantu bonna ne baleekaana nnyo n'amaanyi gaabwe gonna nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw'Essinzizo gutandikiddwa. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11
12
Bangi ku bakabona n'Abaleevi, n'abakulu b'ennyumba, abakadde abaalaba Essinzizo eryasooka, bwe baalaba omusingi gw'Essinzizo lino nga guzimbibwa, ne batema emiranga. Naye abalala abaaliwo ne baleekaana nnyo olw'essanyu,
13
nga tewali muntu ayinza kwawula kuleekaana kwa ssanyu na kwa nnaku, kubanga baaleekaana nnyo, oluyoogaano ne luwulirwa wala.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
Recommended Reading
Commentary
Ezra Commentaries
→
Devotional
Ezra Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→