bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 7
Ezra 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
1
Ebyo bwe byaggwa, mu bufuzi bwa kabaka Arutazeruzeesi ow'e Perusiya, ne wabaawo omusajja gwe bayita Ezera, mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Hirukiya,
2
Hirukiya mutabani wa Sallumu, Sallumu mutabani wa Zaddooki, Zaddooki mutabani wa Ahituubu,
3
Ahituubu mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Merayooti,
4
Merayooti mutabani wa Zerahiya, Zerahiya mutabani wa Wuzzi, Wuzzi mutabani wa Bukki,
5
Bukki mutabani wa Abisuuwa, Abisuuwa mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, Eleyazaari mutabani wa Arooni Ssaabakabona.
6
Ezera oyo n'ava e Babilooniya n'agenda e Abasiriya. Yali amanyi nnyo eby'omu Mateeka, Mukama Katonda wa Yisirayeli, ge yawa Musa. Kabaka n'awa Ezera byonna bye yamusaba, kubanga Katonda yali wamu ne Ezera oyo.
7
Mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzesi, abamu ku Bayisirayeli n'abamu ku bakabona, n'Abaleevi, n'abayimbi n'abaggazi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, nabo ne bagenda e Abasiriya.
8
Awo Ezera n'atuuka e Abasiriya mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi.
9
Yava e Babilooniya, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogusooka, Katonda n'amuyamba n'atuuka e Abasiriya nga lubereberye omwezi ogwokutaano.
10
Ezera n'anyiikira nnyo okusoma Amateeka ga Mukama, n'okugagoberera n'okugayigirizanga mu Yisirayeli.
11
Kino kye kiwandiiko Arutazeruzeesi kye yawa Ezera kabona era omukugu mu bigambo by'amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yawa Abayisirayeli.
12
“Nze Arutazeruzeesi, kabaka wa bakabaka, nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, era omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu.
13
“Ndagira nti mu bwakabaka bwange bwonna, Abayisirayeli bonna, ne bakabona, n'Abaleevi abaagala okugenda naawe e Abasiriya, bakkiriziddwa.
14
Nze kabaka n'abawabuzi bange omusanvu, tukutuma ogende mu Abasiriya ne mu Buyudaaya, olabe oba nga amateeka ga Katonda wo agaakukwasibwa gagobererwa.
15
Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu, kabaka n'abakiise be bye bawaddeyo nga beeyagalidde, eri Katonda wa Yisirayeli, alina ekifo kye ky'abeeramu mu Abasiriya.
16
Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu gw'onookuŋŋaanya mu kitundu kyonna eky'e Babilooniya, otwale n'eby'Abayisirayeli bonna ne bakabona, bye beetemye okuwaayo nga beeyagalidde ku lw'Essinzizo lya Katonda waabwe e Abasiriya.
17
“Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza, ozigulemu ente ennume, n'endiga ennume, n'abaana b'endiga, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, era n'ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako, obiweereyo ku alutaari mu Ssinzizo e Abasiriya.
18
Ffeeza ne zaabu ebiriba bisigaddewo mubikozese kyonna Katonda wammwe ky'asiima.
19
Ebintu bye bakuwa okukozesa mu Ssinzizo lya Katonda wammwe, mubitwale mu maaso ga Katonda e Abasiriya.
20
Ebirala byonna ebisigadde nga byetaagibwa okuwaayo mu Ssinzizo, biggyibwe mu ggwanika lya kabaka.
21
“Nze Kabaka Arutazeruzeesi ndagira abawanika bonna ab'omu kitundu eky'emitala w'omugga nti ekintu kyonna Ezera kabona omuwandiisi w'Amateeka ga Katonda w'eggulu ky'anaasaba, bakimuwe awatali kulwa.
22
Bamuwe obutasukka kilo enkumi ssatu mu bina eza ffeeza, ne kilo omutwalo gumu ez'eŋŋaano, ne lita enkumi bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, ne lita enkumi bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti. Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga.
23
Ekyo kyonna Katonda w'eggulu kye yalagira, mukikolenga mu bujjuvu olw'Essinzizo lye, Katonda aleme okunnyiigira wadde okunyiigira abo abalidda mu bigere byange.
24
Temuggyanga misolo ku bakabona, n'Abaleevi, n'abayimbi, n'abaggazi, n'abakozi wadde abaweereza abalala bonna ab'omu Ssinzizo.
25
“Naawe Ezera, nga weeyambisa amagezi Katonda wo ge yakuwa, londa abafuzi n'abalamuzi, balamulenga abantu bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo, abali mu kitundu ekiri emitala w'omugga, era oyigirize amateeka ago buli muntu atagamanyi.
26
Buli muntu anaajeemeranga amateeka ga Katonda wo, oba aga kabaka, aweebwenga ekibonerezo eky'amaanyi, oba kya kuttibwa, oba kya kuwaŋŋangusibwa, oba kya kunyagibwako bibye, oba eky'okusibwa.”
27
Awo Ezera n'agamba nti: “Mukama Katonda wa bajjajjaffe atenderezebwe, eyateeka mu mutima gwa kabaka ekirowoozo ekyenkanidde awo okunyiriza Essinzizo eriri e Abasiriya.
28
Katonda ansaasidde ne njagalibwa kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Mukama, Katonda wange, ampadde amaanyi ne nsobola okusikiriza abakulembeze mu Yisirayeli okugenda nange.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
Recommended Reading
Commentary
Ezra Commentaries
→
Devotional
Ezra Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→