bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 10
Ezra 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
1
Awo Ezera bwe yali ng'avuunamye mu maaso g'Essinzizo, ng'asinza, ng'ayatula ebibi ebyo era ng'akaaba, Abayisirayeli bangi nnyo, omwali abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bakuŋŋaanira w'ali, nga bakaaba nnyo amaziga.
2
Awo Sekaniya, mutabani wa Yehiyeeli, ow'omu zzadde lya Elamu, n'agamba Ezera nti: “Tunyiizizza Katonda waffe, ne tuwasa abakazi ab'amawanga amalala abali mu nsi eno. Naye era Yisirayeli ekyalina essuubi.
3
Kale nno kaakano tukole endagaano ne Katonda waffe, tugobe abakazi bano bonna n'ab'ezzadde lyaabwe, nga tugoberera amagezi, ggwe mukama wange, n'abo abagondera ebiragiro bya Katonda waffe, ge munaatuwa, era tukole ng'amateeka bwe galagira.
4
Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, era naffe tuli wamu naawe. Guma omwoyo, okikole.”
5
Awo Ezera n'asituka n'alayiza abakulu ba bakabona n'Abaleevi, n'Abayisirayeli bonna, okukolera ku ekyo ekyogeddwa. Awo ne balayira.
6
Awo Ezera n'asituka n'ava mu maaso g'Essinzizo, n'ayingira mu kisenge kya Yehohanani, mutabani wa Eliyasibu, n'amalayo ekiro ekyo nga talidde era nga tanywedde, ng'akungubagira Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse olw'obutaba beesigwa.
7
Ne balangirira mu Buyudaaya ne mu Abasiriya nti abaava mu buwaŋŋanguse bonna bakuŋŋaanire e Abasiriya.
8
Era nti buli atalijja mu bbanga lya nnaku ssatu, ng'abakungu n'abakulembeze bwe balagidde, alifiirwa ebintu bye byonna, era naye yennyini aligobwa mu kibiina ky'abavudde mu buwaŋŋanguse.
9
Awo abasajja bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini ne bakuŋŋaanira e Abasiriya mu bbanga lya nnaku ssatu. Olunaku lwali lwa makumi abiri olw'omwezi ogw'omwenda, abantu bonna ne batuula mu luggya, mu maaso g'Essinzizo, nga bakankana olw'obukulu bw'olukuŋŋaana, n'olw'enkuba ennyingi.
10
Kabona Ezera n'ayimirira n'abagamba nti: “Mwasobya okuwasa abakazi ab'amawanga amalala, ne mwongera ku Yisirayeli omusango.
11
Kale nno kaakano mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe ebibi byammwe, era mukole ekyo ky'asiima. Mweyawule ku b'amawanga amalala abali mu nsi eno, ne ku bakazi bannamawanga.”
12
Abantu ne baddamu mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Kituufu. Tuteekwa okukola nga bw'ogambye.
13
Naye abantu tuli bangi era n'enkuba etonnya nnyo. Tetuyinza kuyimirira bweru, era omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu nsonga eyo.
14
Kale abakulembeze baffe, beeyimirire ekibiina kyonna. Awo ab'omu bibuga byaffe bonna abaawasa abakazi ab'amawanga amalala, bajje mu kiseera ekiteekeddwawo, nga bali wamu n'abakulembeze era n'abalamuzi aba buli kibuga, Katonda waffe alyoke alekere awo okutusunguwalira ennyo olw'ensonga eyo.”
15
Yonataani mutabani wa Asayeeli, ne Yazeya mutabani wa Tikuva, be bokka abaagaana ekigambo ekyo, era Mesullamu ne Sabbetaayi Omuleevi ne babawagira.
16
Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakkiriza entegeka eyo. Awo Ezera, kabona n'alonda abasajja okuva mu bakulu b'ebika ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, n'awandiika amannya gaabwe. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne batandika okunoonyereza ku nsonga eyo,
17
ne bamaliriza ensonga z'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala, ng'olunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye terunnayita.
18
Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala: Mu batabani ba Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne baganda be, mwalimu Maaseya ne Eliyezeeri, ne Yalibu ne Gedaliya.
19
Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe, era kubanga omusango gubasinze, ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo kyabwe olw'ekibi kyabwe.
20
Ne ku batabani ba Yimmeri: Hanani ne Zebadiya.
21
Ne ku batabani ba Harimu: Maaseya, ne Eliya, ne Semaaya ne Yehiyeeli ne Wuzziya;
22
ne ku batabani ba Pasuri: Eliyowenayi, Maaseya, Yisimayeli, Netaneeli, Yozabadi ne Elasa.
23
Ne ku Baleevi: Yozabadi, Simeeyi, Kelaya era ayitibwa Kelita, Petahiya, Yuda, ne Eleyezeeri;
24
ne ku bayimbi: Eliyasibu; ne ku baggazi: Sallumu ne Telemu ne Wuli.
25
Ne ku Bayisirayeli abalala: ku batabani ba Palosi: Ramiya, Yizziya, Malukiya, Miyamini, Eleyazaari, Malukiya, ne Benaaya.
26
Ne ku batabani ba Elamu: Mattaniya, Zekariya, Yehiyeeli, Abudi, Yeremooti, ne Eliya;
27
ne ku batabani ba Zattu: Eliyowenayi, Eliyasibu, Mattaniya, Yeremooti, Zabadi ne Aziiza;
28
ne ku batabani ba Bebayi: Yehohanani, Hananiya, Zabbayi, ne Atulaayi;
29
ne ku batabani ba Bani: Mesullamu, Malluki, Adaya, Yasubu, Seyali, ne Yeremooti;
30
ne ku batabani ba Pahati Mowaabu: Aduna, Kelali, Benaaya, Maaseya, Mattaniya, Bazaleeri, Binnuyi ne Manasse;
31
ne ku batabani ba Halimu: Eliyezeeri, Yissiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni,
32
Benyamiini, Malluki ne Samariya;
33
ne ku batabani ba Hasumu: Mattenayi, Mattatta, Zabadi, Elifeleti, Yeremaayi, Manasse ne Simeeyi;
34
ne ku batabani ba Bani: Maadayi, Amuraamu, Wuweli,
35
Benaaya, Bedeya, Keluhi,
36
Vaniya, Meremooti, Eliyasibu,
37
Mattaniya, Mattenaayi ne Yaasu,
38
ne Bani, ne Binnuyi, Simeeyi,
39
Selemiya, Natani, Adaya,
40
Makunadebayi, Sasayi, Saraayi
41
Azareeli, Selemiya, Semariya
42
Sallumu, Amariya ne Yosafu;
43
ne ku batabani ba Nebo: Yeyeli, Matisiya, Zabadi, Zebina, Yaddayi, Yoweeli ne Benaaya.
44
Abo bonna baali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala, era nga n'abamu babazaddemu abaana.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10