bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 8
Ezra 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
1
Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, era luno lwe lukalala lw'abo abaava e Babilooniya, ku mulembe gwa Kabaka Arutazeruzesi:
2
ku basibuka mu Finehaasi, Gerusoomu; ku basibuka mu Yitamaari, Daniyeli; ku basibuka mu Dawudi, Attusi;
3
ku basibuka mu Sekaniya, mu lunyiriri lwa Parosi, Zekariya, eyawandiikibwa awamu n'abasajja kikumi mu ataano;
4
ku basibuka mu Pahatimowaabu, Eliyehoyenayi mutabani wa Zerahiya, era wamu naye n'abasajja ebikumi bibiri;
5
ku basibuka mu Zattu, Sekaniya mutabani wa Yahaziyeeli, wamu n'abasajja ebikumi bisatu;
6
ku basibuka mu Adini, Ebedi mutabani wa Yonataani wamu n'abasajja amakumi ataano;
7
ku basibuka mu Elamu, Yesaaya mutabani wa Ataliya, wamu n'abasajja nsanvu;
8
ku basibuka mu Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayeli, wamu n'abasajja kinaana;
9
ku basibuka mu Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yehiyeeli, wamu n'abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana;
10
omu ku basibuka mu Selomiti, mutabani wa Yosifiya, wamu n'abasajja kikumi mu nkaaga;
11
ku basibuka mu Bebayi, Zekariya mutabani wa Bebayi, wamu n'abasajja amakumi abiri mu munaana;
12
ku basibuka mu Azugaadi, Yohanaani mutabani wa Akkatani, wamu n'abasajja kikumi mu kkumi;
13
ku basibuka mu Adonikamu, abajja oluvannyuma, amannya gaabwe: Elifeleti, ne Yeweli ne Semaaya, wamu n'abasajja nkaaga;
14
ku basibuka mu Biguvaayi, Wutayi ne Zakkuri, wamu n'abasajja nsanvu.
15
Abo bonna ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogulaga e Ahava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Bwe natunula mu kibinja ky'abantu ne bakabona, ne nsanga nga temuli Muleevi n'omu.
16
Bwe ntyo ne ntumya Eleyazaari, ne Alyeri, ne Semaaya, ne Elunatani, ne Yaribu, ne Elunatani, ne Natani, ne Zekariya ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyaribu ne Elunatani abasajja abamanyi ensonga.
17
Ne mbatuma okugenda ewa Yiddo omukulembeze w'e Kasifiya, ne mbabuulira bye baba bamugamba ye ne baganda be, abaweereza b'omu Ssinzizo, batuweereze abantu ab'okuweereza Katonda waffe mu Ssinzizo.
18
Olw'obuyinza bwa Katonda, ne batuweereza Serebiya, omusajja Omuyisirayeli ow'amagezi ow'omu Kika kya Leevi era ow'omu nnyumba ya Mahuli. N'ajja ne batabani be ne baganda be, bonna awamu kkumi na munaana.
19
Era ne batuma Hasabiya ne Yesaaya ow'omu nnyumba ya Merari, wamu n'ab'eŋŋanda zaabwe ne batabani baabwe, bonna awamu amakumi abiri.
20
Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Ssinzizo ebikumi bibiri mu abiri, Kabaka Dawudi n'abakungu be, be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna baawandiikibwa amannya gaabwe.
21
Awo ne nnangiririra eyo ku mugga Ahava okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, era tumusabe atukulembere mu lugendo lwaffe, atukuume n'Ab'ezzadde lyaffe era n'ebintu byaffe,
22
kubanga nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka ampe ekibinja ky'abaserikale, n'abeebagala embalaasi batukuume mu balabe baffe nga tugenda. Nali ŋŋambye kabaka nti Katonda waffe awa omukisa buli muntu amwesiga, wabula anyiigira era n'abonereza buli amulekulira.
23
Awo ne tusiiba, ne tusaba Katonda atukuume era n'awulira kye twamusaba.
24
Ebyo bwe byaggwa, ne nnonda bakabona abakulu kkumi na babiri: Serebiya, ne Hasabiya, ne baganda baabwe kkumi.
25
Abo ne mbapimira ffeeza ne zaabu, n'ebintu kabaka n'abawabuzi be, n'abakungu be era n'Abayisirayeli bye baawaayo bikozesebwe mu Ssinzizo.
26
Nabapimira ne mbakwasa ffeeza: talanta lukaaga mu ataano; ebintu ebya ffeeza bya talanta kikumi; zaabu: talanta kikumi,
27
n'ebbakuli eza zaabu amakumi abiri nga zizitowa kilo munaana, n'ebintu bibiri eby'ekikomo ekirungi, ekizigule eky'omuwendo nga zaabu.
28
Ne mbagamba nti: “Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu ebikozesebwa bitukuvu, era ffeeza ne zaabu oyo kye kiweebwayo mu kweyagalira eri Mukama, Katonda wa bajjajjammwe.
29
Mubikuume n'obwegendereza okutuusa lwe munaatuuka mu Ssinzizo, ne mubipimira mu kisenge kya bakabona abakulu, ne mubikwasa abakulembeze ba bakabona abakulu n'ab'Abaleevi era n'abakulembeze b'Abayisirayeli mu Abasiriya.”
30
Awo bakabona n'Abaleevi ne batwala ffeeza, ne zaabu n'ebintu nga bwe byapimibwa, okubireeta e Abasiriya mu Ssinzizo.
31
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye, lwe twava ku mugga Ahava okugenda e Abasiriya. Katonda waffe yali wamu naffe, n'atukuuma mu balabe n'abateezi mu kkubo nga tutambula.
32
Bwe twatuuka e Abasiriya, ne tuwummula okumala ennaku ssatu.
33
Ku lunaku olwokuna ne tugenda mu Ssinzizo, ne tupima ffeeza, ne zaabu n'ebintu ebikozesebwa, era ne tubikwasa kabona Meremooti, mutabani wa Wuriya. Baali wamu ne Eleyazaari mutabani wa Finehaasi n'Abaleevi babiri, Yozabadi mutabani wa Yeswa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi.
34
Buli kintu ne kibalibwa era ne kipimibwa obuzito bwakyo, era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo.
35
Abasibe abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne bawaayo eri Katonda wa Yisirayeli ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bawaayo ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yonna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, endiga ento nsanvu mu musanvu. Era ne bawaayo embuzi ennume kkumi na bbiri, nga kye kiweebwayo olw'ebibi. Ezo zonna ne ziba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa.
36
Era ne batwala ekiwandiiko kabaka kye yabawa, ne bakiwa abafuzi n'abakungu abali emitala w'omugga, abo ne bayamba abantu era n'Essinzizo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10