bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezra 2
Ezra 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
1
Bano be bantu ab'omu ttwale ly'e Buyudaaya, abamu ku abo abaawaŋŋangusirizibwa mu Babilooni ne babeerayo okuviira ddala Kabaka Nebukadunezzari lwe yabatwalayo nga basibe, abaakomawo mu Abasiriya ne mu bitundu ebirala eby'omu Buyudaaya, buli omu n'adda mu kibuga ky'ewaabwe.
2
Abakulembeze baabwe baali: Zerubabbeeli, Yeswa, Nehemiya, Seraya, Reeraya, Moruddekaayi, Bilisani, Misupaari, Bigivayi, Rehumu, ne Baana. Luno lwe lukalala lw'abasajja b'omu Yisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse:
3
Ab'ezzadde lya Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri.
4
Ab'ezzadde lya Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
5
Ab'ezzadde lya Ara, lusanvu mu nsanvu mu bataano.
6
Ab'ezzadde lya Pahatimowaabu nga be b'ezzadde lya Yeswa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri.
7
Ab'ezzadde lya Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana.
8
Ab'ezzadde lya Zattu, lwenda mu ana mu bataano.
9
Ab'ezzadde lya Zakkayi, lusanvu mu nkaaga.
10
Ab'ezzadde lya Bani, lukaaga mu ana mu babiri.
11
Ab'ezzadde lya Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu.
12
Ab'ezzadde lya Azugaadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri.
13
Ab'ezzadde lya Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
14
Ab'ezzadde lya Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga.
15
Ab'ezzadde lya Adini, bina mu ataano mu bana.
16
Ab'ezzadde lya Ateri era ayitibwa Heezeekiya kyenda mu munaana.
17
Ab'ezzadde lya Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu.
18
Ab'ezzadde lya Yola, kikumi mu kkumi na babiri.
19
Ab'ezzadde lya Hasumu, bibiri mu abiri mu basatu.
20
Ab'ezzadde lya Gibbari, kyenda mu bataano.
21
Ab'ezzadde lya Betilehemu, kikumi mu abiri mu basatu.
22
Abasajja b'e Netofa, amakumi ataano mu mukaaga.
23
Abasajja b'e Anatooti, kikumi mu abiri mu munaana.
24
Ab'ezzadde lya Azumaveti, ana mu babiri.
25
Ab'ezzadde lya Kiriyati Ariimu, Kefira, ne Beeroti, lusanvu mu ana mu basatu.
26
Ab'ezzadde lya Raama ne Gaba, lukaaga mu abiri mu omu.
27
Abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri.
28
Abasajja b'e Beteli ne Ayi, bibiri mu abiri mu basatu.
29
Ab'ezzadde lya Nebo, ataano mu babiri.
30
Ab'ezzadde lya Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga.
31
Ab'ezzadde lya Elamu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana.
32
Ab'ezzadde lya Arimu, bisatu mu abiri.
33
Ab'ezzadde lya Loodi, Hadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano.
34
Ab'ezzadde lya Yeriko, bisatu mu ana mu bataano.
35
Ab'ezzadde lya Senna, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu.
36
Bakabona be bano: Ab'ezzadde lya Yedaaya, ab'ennyumba ya Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu.
37
Ab'ezzadde lya Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri.
38
Ab'ezzadde lya Pasuri, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu.
39
Ab'ezzadde lya Harimu, lukumi mu kkumi na musanvu.
40
Abaleevi be bano: ab'ezzadde lya Yeswa ne Kadumyeli, ab'ennyumba ya Hoodaviya, nsanvu mu bana.
41
Abayimbi: ab'ezzadde lya Asafu, kikumi mu abiri mu munaana.
42
Ab'ezzadde ly'abaggazi be bano: ab'ezzadde lya Sallumu, n'aba Ateri, n'aba Talumooni, n'aba Akkubu, n'aba Hatita, n'aba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda.
43
Abaana b'abaweereza b'omu Ssinzizo be bano: Ab'ezzadde lya Ziha, ab'ezzadde lya Hasufa, ab'ezzadde lya Tabbawooti:
44
ab'ezzadde lya Kerosi, ab'ezzadde lya Siyaha, ab'ezzadde lya Padoni,
45
ab'ezzadde lya Lebana, ab'ezzadde lya Hagaba, ab'ezzadde lya Akkubu,
46
ab'ezzadde lya Agabu, ab'ezzadde lya Samulaayi, ab'ezzadde lya Hanani,
47
ab'ezzadde lya Giddeli, ab'ezzadde lya Gahari, ab'ezzadde lya Reyaaya,
48
ab'ezzadde lya Rezini, ab'ezzadde lya Nekoda, ab'ezzadde lya Gazzamu,
49
ab'ezzadde lya Wuzza, ab'ezzadde lya Paseya, ab'ezzadde lya Besayi,
50
ab'ezzadde lya Asuna, ab'ezzadde lya Mewuniimu, ab'ezzadde lya Nefisimu,
51
ab'ezzadde lya Bakubuki, ab'ezzadde lya Hakufa, ab'ezzadde lya Haruhuli,
52
ab'ezzadde lya Bazuluti, ab'ezzadde lya Mehida, ab'ezzadde lya Harusa,
53
ab'ezzadde lya Barukosi, ab'ezzadde lya Sisera, ab'ezzadde lya Tema,
54
ab'ezzadde lya Neziya, ab'ezzadde lya Hatifa.
55
Ab'ezzadde ly'abaddu ba Solomooni: ab'ezzadde lya Sotayi, ab'ezzadde lya Hassofereti, ab'ezzadde lya Peruda,
56
ab'ezzadde lya Yaala, ab'ezzadde lya Darukoni, ab'ezzadde lya Giddeli,
57
ab'ezzadde lya Sefatiya, ab'ezzadde lya Hattili, ab'ezzadde lya Pokereti Azzebayimu, n'b'ezzadde lya Ami.
58
Abaweereza b'omu Ssinzizo, n'abaana b'abaweereza ba Solomooni bonna awamu baali bisatu mu kyenda mu babiri.
59
Abaava e Telumela, n'e Teluharusa, n'e Kerubi, n'e Addani, n'e Yimmeri, naye ne batasobola kukakasa buzaale bwabwe oba okulaga nti Bayisirayeli, be bano:
60
ab'ezzadde lya Delaaya, ab'ezzadde lya Tobiya, n'ab'ezzadde lya Nekoda. Bonna wamu baali lukaaga mu ataano mu babiri.
61
Era ab'ezzadde lya bakabona be bano: ab'ezzadde lya Habaaya, ab'ezzadde lya Hakkozi, ab'ezzadde lya Baruzillayi. Baruzillayi oyo yawasa omu ku bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
62
Abo ne banoonya amannya gaabwe mu nkalala z'obuzaale, naye ne batalabikamu, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu.
63
Omukulu waabwe n'abagamba nti tebateekwa kulya ku biweebwayo eri Katonda, okutuusa nga bafunye kabona asobola okukozesa Wurimu ne Tummimu.
64
Bonna awamu abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
65
nga tobaliddeeko baddu baabwe na bazaana baabwe abaali akasanvu mu ebisatu mu asatu mu musanvu; era baalina abayimbi ebikumi bibiri abasajja n'abakazi.
66
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe zaali bibiri mu ana mu ttaano;
67
eŋŋamiya zaabwe zaali ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe zaali kakaaga mu lusanvu mu abiri.
68
Abamu ku bakulu b'ebika ebiri mu Abasiriya, bwe baatuuka mu Ssinzizo lya Mukama, ne bawaayo nga beeyagalidde eby'okuyamba okuddamu okuzimba Essinzizo lya Katonda mu kifo kyalyo.
69
Ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo byali kilo bitaano eza zaabu, kilo enkumi bbiri mu lunaana eza ffeeza n'ebyambalo bya bakabona kikumi.
70
Bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu abalala, n'abayimbi n'abaggazi, n'abaweereza ab'omu Ssinzizo, ne baabeeranga mu bibuga byabwe, n'Abayisirayeli abalala bonna ne baabeeranga mu bibuga ebyabwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
Recommended Reading
Commentary
Ezra Commentaries
→
Devotional
Ezra Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→