bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 1
Ezra 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogusooka ogwa Kuuro kabaka wa Buperusi, okutuukiriza ekigambo ky'Omukama kye yali ayogedde ng'ayita mu Yeremiya, Omukama yasindika mu mutima gwa Kuuro kabaka wa Buperusi, n'ayisa ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, n'akiteeka mu buwandiike ng'agamba nti:
2
“Kino Kuuro kabaka wa Buperusi ky'agamba: ‘Omukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi; andagidde okumuzimbira ekiggwa mu Yeruzaalemu eky'omu Yuda.
3
Buli yenna ow'omu ggwanga lye ali mu mmwe, Omukama Katonda we abeere naye; oyo ayambuke mu Yeruzaalemu mu Yuda, azimbe ekiggwa ky'Omukama Katonda wa Yisirayeli, Katonda ali mu Yeruzaalemu.
4
Buli yenna eyasigalawo, eyo yonna gy'ali, ayambibwe abantu b'omu kifo gy'ali, nga bamuwa ffeeza, zaabu, ebintu, amagana ne bye banaaba batonye kyeyagalire olw'Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu.’ ”
5
Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe mu Yuda ne Benyamiini, bakabona n'Abaleevi, na buli yenna Katonda gwe yasindika mu mutima, baasitukiramu ne bayambuka, bazimbe Ekiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu.
6
Ab'oku miriraano gyabwe bonna ne babadduukirira n'ebyokukozesa ebya ffeeza, ebya zaabu, ebintu ebirala, amagana, n'ebirabo ebirala eby'omuwendo nga tobaze bye baatonanga kyeyagalire.
7
Ne kabaka Kuuro n'aggyayo ebintu by'omu Kiggwa ky'Omukama Nebukadunezzari bye yali aggye e Yeruzaalemu n'abiteeka mu kiggwa kya lubaale we.
8
Kuuro kabaka wa Buperusi yatuma Mituredati omuwanika n'abiggyayo, n'abibalira Sesubazzari omufuzi wa Yuda.
9
Guno gwe muwendo gwabyo: ebibya ebya zaabu amakumi asatu; ebibya ebya ffeeza lukumi; obwambe amakumi abiri mu mwenda; ebikompe ebya zaabu amakumi asatu;
10
ebikompe ebya ffeeza ebikumi bina mu kkumi, n'ebintu ebirala lukumi.
11
Byonna ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Byonna Sesubazzari n'abitwala wamu n'abo abaali bambuka nga bava mu buwaŋŋanguse, bwe baali bava e Babiloni nga baddayo e Yeruzaalemu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10