bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 9
Ezra 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
1
Oluvannyuma, abakulembeze bajja gye ndi nga bagamba nti: “Abantu ba Yisirayeli, nga mwe muli ne bakabona n'Abaleevi, balemeddwa okwewala abantu b'ensi n'empisa zaabwe ezeenyinyalwa: Abakanaani, Abakitti, Abaperizzi, Abayebusi, Abammoni, Abamowabu, Abamisiri n'Abaamori.
2
Bawasizza abamu ku bawala baabwe ne babawasiza ne batabani baabwe, ne batabika olulyo olutukuvu n'abantu b'ensi zino. Abakulembeze n'abakungu be bakulembedde mu kusobya kuno.”
3
Bwe nawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekkanzu yange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula ekirevu kyange n'enviiri ku mutwe gwange, ne ntuula awo nga mpuniikiridde.
4
Bonna abatya olw'ebigambo bya Katonda wa Yisirayeli ne bakuŋŋaanira we ndi olw'okusobya kw'ababadde mu buwaŋŋanguse. Natuula awo nga mpuniikiridde okutuusa ku kitambiro eky'akawungeezi.
5
Mu kutambira okw'akawungeezi nasituka ne nva mu buyinike bwange; mu kkanzu yange n'omunagiro gwange ebiyulifu, ne nfukamira ku maviivi gange, ne ngololera emikono gyange Omukama Katonda wange,
6
ne neegayirira nti: “Ayi Katonda wange, nswadde, n'ensonyi zinkwata okukusitulira amaaso gange, kubanga ebyonoono byaffe byetuumye ne bisukka n'emitwe gyaffe, n'omusango gwaffe munene gukwata eyo ku ggulu.
7
Okuva mu budde bwa bajjajjaffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero, omusango gwaffe gubadde munene. Olw'okubeera ebibi byaffe kyetwava tuweebwayo, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mikono gya bakabaka b'ensi endala n'eri ekitala, mu busibe, mu kunyagibwa ne mu kuswala nga ne bwe kiri kati.
8
Wuuno kati mu kabanga kano ekisa tukisanze ew'Omukama Katonda waffe, n'atulekerawo abaasigalawo, n'atuteerawo ekisulo ekinywevu mu kifo kye ekitukuvu, bw'atyo Katonda waffe n'amulisa amaaso gaffe, n'atuwa akalembereza mu buddu bwaffe,
9
yadde tuli baddu, ne mu buddu bwaffe Katonda waffe teyatulekerera, naye yatugirira ekisa kye ekitagooka mu maaso ga bakabaka ba Buperusi, n'atuzzaamu obulamu, tuzimbe Ekiggwa kya Katonda waffe, ebifulukwa byakyo biddaabirizibwe, n'atuwa obwewogomo mu Yuda ne mu Yeruzaalemu.
10
“Nga bwe biri biti, Katonda waffe, tugambe ki? Anti ebiragiro byo twabivaako,
11
bye wawa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: ‘Ensi mmwe gye mugenda okuyingira efuuke eyammwe, nsi eyajaajaamizibwa obugwagwa bw'abantu baamu; olw'empisa zaabwe ezeenyinyalwa baagijjuza obugwagwa bwabwe okuva gy'eva okutuuka gy'ekoma.
12
Awo nno bawala bammwe temubafumbizanga batabani baabwe, ne bawala baabwe temubawasizanga batabani bammwe. Temunoonyanga omulundi n'ogumu kubeera nabo mu ddembe, yadde okweyagalira mu mikisa gyabwe, lwe muliba ab'amaanyi ne mweliira ebirungi by'omu nsi eyo, ne mubirekera batabani bammwe ng'obusika obw'emirembe gyonna.’
13
“Bino byonna byatutuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi, n'olw'omusango gwaffe omunene; naye ggwe, Katonda waffe, watubonereza kitono okugerera ku bibi byaffe kye byali bigwanira, n'otuleka ne tusigalawo, nga bwe tuli kaakati.
14
Era tunaddamu okumenya ebiragiro byo, ne tuwasaŋŋana n'abantu bano ab'empisa ezeenyinyalwa? Olwo tolisinzaawo okutusunguwalira, n'otusaanyaawo nga toleseewo n'asigalawo, kaawonawo?
15
Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oli mutuukirivu, kubanga tusigaddewo nga bakaawonawo nga bwe kiri olwa leero. Tuutuno, tuli mu maaso go n'emisango gyaffe; olw'okubeera gyo tetuguma na kuyimirira mu maaso go.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10